Bobi Wine yakubiriza abavubuka okwettanira eby’emizannyo.

Bobi Wine yakubiriza abavubuka okwettanira eby’emizannyo.

Omukulmbeze wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu yakubirizza abavubuka buliijjo okwennyigira mu mizannyo egya buli kika kubanga kye kintu ekibagatta nga bannayuganda. Bobi Wine yabadde Mwererwe mu munisipaali ye Nansana mu Wakiso gyeyabadde mu kuggalawo emipiira gyabawagizi ba NUP okwetoloola egwanga. Omupiira gwabadde wakati ttiimu ya Ritah Nabukenya ne Shakirah Nabagesera era ttiimu ya Nabagesera yeyawangudde

Omukulmbeze wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu yakubirizza abavubuka buliijjo okwennyigira mu mizannyo egya buli kika kubanga kye kintu ekibagatta nga bannayuganda.

Bobi Wine yabadde Mwererwe mu munisipaali ye Nansana mu Wakiso gyeyabadde mu kuggalawo emipiira gyabawagizi ba NUP okwetoloola egwanga. Omupiira gwabadde wakati ttiimu ya Ritah Nabukenya ne Shakirah Nabagesera era ttiimu ya Nabagesera yeyawangudde n’esitukira mu nte Namba wamu n’ekikopo.

Kyagulanyi Bobi Wine.

Kyagulanyi yategeezezza nga bwebasalawo okuteekawo empaka zino eza ba Foot Soldiers n’ekigendererwa eky’okugatta abantu wamu n’okujjukira abawagizi b’ekibiina abafiira mu Lutabaalo wakati mu kunoonya akalulu.

Ali Bukeni amanyiddwa nga Nubian Lee akulira eby’emizannyo mu kibiina kya NUP yebazizza abavubuka okukkiriza okwenyigira mu mizannyo kubanga emizannyo ky’ekisinga okukungaanya abantu.

Omupiira gwetabidwaako ababaka ba palamenti okuli Patrick Nsanja owa Ntenjeru North,Tebandeke owa Baale county, Meeya Ali Nganda Mulyanyama wamu n’abakulembeze okuva mu munisipaali ye Nansana.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *