Bruce agugumbudde Rashford.

Bruce agugumbudde Rashford.

EYALIKO omuzannyi wa ManU era omutendesi wa mu ttiimu za Premier ez’enjawulo, Steve Bruce agugumbudde Marcus Rashford olw’omutindo gw’ayolesa ku kisaawe ensangi zino. ManU yakubiddwa Newcastle ggoolo 1-0 ku Lwomukaaga kyokka Bruce agamba nti omu ku bazannyi abakubya ttiimu eno ye Rashford wadde ng’ate y’omu ku basing okusasulwa omusaala. “Alina okwekuba mu kifuba ku mutindo

EYALIKO omuzannyi wa ManU era omutendesi wa mu ttiimu za Premier ez’enjawulo, Steve Bruce agugumbudde Marcus Rashford olw’omutindo gw’ayolesa ku kisaawe ensangi zino.

ManU yakubiddwa Newcastle ggoolo 1-0 ku Lwomukaaga kyokka Bruce agamba nti omu ku bazannyi abakubya ttiimu eno ye Rashford wadde ng’ate y’omu ku basing okusasulwa omusaala.

“Alina okwekuba mu kifuba ku mutindo gw’ayolesa kuba talina kinene ky’agatta ku ttiimu. Engeri gy’atambulamu ku kisaawe, eraga nti tasaana kuzannyira ttiimu nnene,” Bruce bwe yagambye.

ManU erwana kwezza buggya sizoni eno evuganye waakiri ku bifo bya ttiimu ezigenda mu Champions League. Okukubwa Newcastle kyagirese mu kyamusanvu ku bubonero 24 mu mipiira 14. Ku Lwokusatu, ManU ekyaza Chelsea mu Premier.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *