Abaddukanya ttiimu y’essaza lya Buddu batabukidde abadde Omutendesi Steven Bogere nga bagamba nti ebintu bibadde tebikyatambula. Bogere okumugoba yabadde yakamala okuwangulwa ttiimu ya Buluuli 2-1 mu kibinja kya Masengere mu kikopo ky’omwaka guno mu mupiira ogwazanyiddwa ku Lwomukaaga. Kati balonze abadde omumyuka we Andy Ssali okudda mu bigere bya Bogere abadde yakamala okuwangulira ttiimu eno
Abaddukanya ttiimu y’essaza lya Buddu batabukidde abadde Omutendesi Steven Bogere nga bagamba nti ebintu bibadde tebikyatambula.
Bogere okumugoba yabadde yakamala okuwangulwa ttiimu ya Buluuli 2-1 mu kibinja kya Masengere mu kikopo ky’omwaka guno mu mupiira ogwazanyiddwa ku Lwomukaaga.

Kati balonze abadde omumyuka we Andy Ssali okudda mu bigere bya Bogere abadde yakamala okuwangulira ttiimu eno ebikopo 2 biramba mu mpaka zino.
Buddu eri mu kifo kyakubiri n’obubonero 4 mu kibinja Masengere ekikulembeddwa ttiimu ya Ssingo.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *