Ttiimu y’essaza lya Buddu egudde mu bintu oluvannyu mu lw’okuyiikamu kavvu nga yeetegekera fayinolo y’empaka z’Amasaza nga March 4 mu kisaawe e Wankulukuku. Buddu yaakuttunka ne Busiro mu mupiira ogusuubirwa okubaako n’obugombe. Kkampuni enkozi ya langi eya Plascon yawadde Buddu emitwalo gya doola 2 {mu za Uganda obukkadde 72} zibayambeko mu kwetegekera fayinolo. Mu lukung’aana
Ttiimu y’essaza lya Buddu egudde mu bintu oluvannyu mu lw’okuyiikamu kavvu nga yeetegekera fayinolo y’empaka z’Amasaza nga March 4 mu kisaawe e Wankulukuku.
Buddu yaakuttunka ne Busiro mu mupiira ogusuubirwa okubaako n’obugombe.
Kkampuni enkozi ya langi eya Plascon yawadde Buddu emitwalo gya doola 2 {mu za Uganda obukkadde 72} zibayambeko mu kwetegekera fayinolo.
Mu lukung’aana lw’abaamawulire olwabadde mu kibangirizi kya bannamakulero ba Plascon,Daniel Kayongo yagambye nti’, “Essaza lya Buddu likulaakulanyizaz nnyo omupiira mu Bwakuabaka bwa Buganda ne mu Uganda yonna era eno y’ensonga lwaki tukwataganye nalyo.’’

Ssente zino zaabaweeredwa mu bitundo bibiri nga doola omutwalo gumu gwe gwabaweereddwa mu mpekeate endala endala zaakutumbula in nya lyayo okuyita mu mirimu gye banaaba bakoze okumala omwaka mulamba “Tusuubira okugyongerayo ssente singa ambeera eneeba etambudde bulungi,” Kayonga bwe yagambye.
Avunaanyizibwa ku kutumbula ekifanaanyi kya ttimu y’Essaza lya Buddu , Steven Zziwa lya yagambye nti,’ Tubadde tubulamu kkampuni ennene entukwatirako era twebaza Plascon okutussaamu ssente era tetujja kubayiwayo .’’
Omuteebi yagumizza abawagizi baabwe nti tebagenda kubayiwa ku fayinolo era baakuwangula ekikopo kino.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *