Buddu yatandise okwetegekera fayinolo y’amasaza.

Buddu yatandise okwetegekera fayinolo y’amasaza.

ENKAMBI ya Buddu ezzeemu ebbugumu abazannyi baayo abazannyira mu liigi ya babinywera bwe beeyanjudde mu kutendekebwa nga beetegekera fayinolo y’empaka z’Amasaza. Buddu yatandise okutendekebwa ku Lwomukaaga akawungeezi n’ekigendererwa ky’okwetegekera fayinolo mwe bagenda okuttunkira ne Busiro mu kisaawe e Wankulukuku ku Lwomukaaga. Abamu ku bassita abaaleese ebbugumu mu kutendekebwa kuno ye muyizzitasubwa waabwe, Bruno Bunyaga (eyeegatta

ENKAMBI ya Buddu ezzeemu ebbugumu abazannyi baayo abazannyira mu liigi ya babinywera bwe beeyanjudde mu kutendekebwa nga beetegekera fayinolo y’empaka z’Amasaza.

Buddu yatandise okutendekebwa ku Lwomukaaga akawungeezi n’ekigendererwa ky’okwetegekera fayinolo mwe bagenda okuttunkira ne Busiro mu kisaawe e Wankulukuku ku Lwomukaaga.

Abamu ku bassita abaaleese ebbugumu mu kutendekebwa kuno ye muyizzitasubwa waabwe, Bruno Bunyaga (eyeegatta ku URA) nga yeeyanjuliddewo mu kutendekebwa ku wamu ne Arnold Odong (SC Villa). Bano basuubirwa okwegattibwako bannaabwe okuli Brain Omirambe (Arua Hills), Denis Kalanzi (Police Fc), Jeffery Kaziru (Bright Stars) n’abalala okuli; Collins Onega ne Marvin Nyanzi abakyali ne ttiimu zaabwe eza liigi ya babinywera leero (Mmande).

“Tuli basanyufu olw’abamu ku bassita baffe okuli; Bunyaga ne Omirambe okweyanjula mu kutendekebwa amangu ddala nga twakatandika okwetegekera fayinolo. Tuli bagumu nti tugenda kuddamu okuwangula ekikopo kya sizoni eno, singa n’abasigaddeyo batwegattako tufaaafaagane ne Busiro nga ttiimu yaffe ejjudde bulungi,” ssentebe wa ttiimu eno, Joseph Lutaaya bw’ategeezezza.

Mu ngeri y’emu, Busiro nayo yatandise okutendekebwa ku Lwomukaaga akawungeezi era ng’olwaleero (Mmande) bazannyeemu omupiira gw’omukwano ne Buddo SS n’ekigendererwa ky’okufuna ekifaananyi kya ttiimu yaabwe egenda okuttunka ku fayinolo.

Buddu be bannantameggwa b’empaka zino aba sizoni, bwe baakuba Buweekula ggoolo 2-0 e Kitende. Era bakomyewo sizoni eno nga baagala kuddamu bakole ekintu kye kimu ku Busiro bateekewo likodi y’okusitukira mu kikopo kino emirundi ebiri egy’omuddiring’anwa ekitabangawo mu byafaayo by’empaka zino.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *