Bugema ekomyewo mu nsiike ng’eswakidde.

Bugema ekomyewo mu nsiike ng’eswakidde.

Egyazannyiddwa mu liigi ya yunivaasite Kampala University 3-0 ISBAT Nkumba 2-0 IUEA Leero Mmande Unik – Bugema, Entebbe YUNIVAASITE y’e Bugema ekomyewo mu nsiike ng’eswakidde okufuna wiini esiguukulula Uganda Martyrs Nkozi ku ntikko y’ekibinja A wakati nga ttiimu zombi zirwana okukung’aanya obubonero obwesogga ‘quarter’ mu Pepsi University Football League sizoni eno. Leero Mmande, Bugema ekyalidde

Egyazannyiddwa mu liigi ya yunivaasite

Kampala University 3-0 ISBAT

Nkumba 2-0 IUEA

Leero Mmande

Unik – Bugema, Entebbe

YUNIVAASITE y’e Bugema ekomyewo mu nsiike ng’eswakidde okufuna wiini esiguukulula Uganda Martyrs Nkozi ku ntikko y’ekibinja A wakati nga ttiimu zombi zirwana okukung’aanya obubonero obwesogga ‘quarter’ mu Pepsi University Football League sizoni eno.

Leero Mmande, Bugema ekyalidde University of Kisubi (Unik) ku kisaawe e Ntebe mu gw’okudding’ana oluvannyuma lwa wiiki ewedde Unik okumira ggoolo 5-0 bwe yakyalira Bugema.

Mu kiseera kino, Bugema eri mu kifo kyakubiri n’obubonero 6 mu kibinja A ekikulembeddwa Uganda Martyrs bakyampiyoni ba liigi ya yunivaasite omwaka sizoni ewedde abalina obubonero 9 mu mipiira esatu bonna gye baakazannya, Kabale mu kyokusatu n’obubonero busatu ate Unik terinaayo kabonero.

Ssinga Bugema ewangula ejja kudda ku ntikko y’ekibinja lwa njawulo ya ggoolo ennyingi z’esinga Nkozi wadde obubonero bajja kuba babwenkanya (9). Wabula, ssinga Unik ewangula emikisa gya Bugema okwesogga ‘quarter’ gijja kuba giserebye.

Omutendesi wa Bugema Meddie Nyanzi agamba nti Uganda Martyrs okubakuba (3-1) mu gwaggulawo sizoni, yakasuka ejjinja mu njuki era kati buli ttiimu gye basisinkana bagifiirako okutuusa nga bagikamuddemu ggoolo ze baagala okutangaaza emikisa gy’okwesogga ‘quarter’.

“Ttiimu nnyongedde okugiwagala, abazannyi bonna bali mu mbeera nnungi ate bamalirivu okulwanira obubonero busatu okuva e Kisubi,” Nyanzi bwe yategeezezza.

Omutendesi wa Unik Jesse Lukoki agamba nti bakooye ejjoogo ly’okubakubira awaka ne ku bugenyi ate tebasobola kuva mu mpaka zino nga tebawanguddeyo mupiira. “Ensobi ezibadde zituviiraki obuzibu naddala mu kisenge tuzinogedde eddala, Bugema tugenda kugikwata awaluma,” Lukoki bwe yategeezezza.

 Ate ku wiikendi Kampala University yawandudde ISBAT University ababadde baakajja mu liigi eno omulundi ogusooka bwe yabakubye ggoolo 3-0 olugendo lwabwe ne lukoma nga bakyasigazza omupiira gumu gwe bajja okukyaza Bishop Stuart e Buwambo wabula tegukyakola makulu.

Kampala University esigazza omupiira gumu ng’ekyalira Bishop Stuart e Mbarara gye yakuba (3-1) mu gwasooka e Luzira, guno egwetaagamu akabonero kamu kokka.

Kyambogo yeewozezzaako

Oluvannyuma lwa yunivaasite y’e Ndejje okuwawaabira Kyambogo mu kakiiko akakwasisa empisa mu liigi ya yunivaasite wiiki bbiri emabega nga yeemulugunya ku bigambibwa nti omupiira Kyambogo ng’ekola amaliri (1-1) e Banda gwalimu amancoolo mangi era n’esaba akakiiko katunule mu nsonga eno.

Ku wiikendi Kyambogo yawandiise eri akakiiko nga yeewozaako kati ekirindiriddwa ke kakiiko okutunuulira enjuuyi zombi kaveeyo n’okusalawo okwenkomeredde.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *