Mukawefube w’okwetegekera empaka za CAF Confederation Cup, BUL FC ereese Frank Kalanda n’omutendesi Simeon Masaba. BUL FC, bakyampiyoni ba Uganda Cup sizoni ewedde boongedde okwenyweza bwe baleese omutendensi Simeon Masaba n’omuteebi Frank Kalanda wakati nga beetegekera sizoni ejja. Masaba eyasemba okukola ogw’obutendesi sizoni ewedde mu URA FC kati BUL emuleesa ng’omumyuka wa Alex Isabirye okunnyikiza
Mukawefube w’okwetegekera empaka za CAF Confederation Cup, BUL FC ereese Frank Kalanda n’omutendesi Simeon Masaba.
BUL FC, bakyampiyoni ba Uganda Cup sizoni ewedde boongedde okwenyweza bwe baleese omutendensi Simeon Masaba n’omuteebi Frank Kalanda wakati nga beetegekera sizoni ejja.

Masaba eyasemba okukola ogw’obutendesi sizoni ewedde mu URA FC kati BUL emuleesa ng’omumyuka wa Alex Isabirye okunnyikiza notisi nga ttiimu yeetegekera okuzannya mu mpaka za CAF confederation Cup.
Ate omuteebi Kalanda yajjidde ku ndagaano ya myaka 2 okuva mu police FC era yeweze obutayiwa mutendesi Isabirye olw’obwesigwa bw’amutaddemu ng’amuleta.
Okuteeba gwe mulimu gwe nakugukamu era obwesige BUL bw’entaddemu nsuubiza okubakubira ggoolo nga Zikuumira ttiimu ku ntiko, Kalanda bwe yategeezezza.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *