BUL FC yesoze fayinolo z’ekikopo kya FUFA Super 8.

BUL FC yesoze fayinolo z’ekikopo kya FUFA Super 8.

BUL FC ng’eyambibwako ddiifiri Asadu Ssemmere yayiseewo okwesogga fayinolo z’ekikopo kya ‘FUFA Super 8’ bwe yawanduddemu SC Villa ku mugatte gwa peneti (6-5). Baasoose kulemagana (1-1) mu ddakiika 90 ne bagenda mu bunnya. Ddiifiri Ssemmere yagabidde BUL ggoolo ey’ekyenkanyi oluvannyuma lwa Simon Mukisa owa Villa okukuba Reagan Kalyowa ebweru wa bookisi n’agwa mu ntabwe, ddiifiri

BUL FC ng’eyambibwako ddiifiri Asadu Ssemmere yayiseewo okwesogga fayinolo z’ekikopo kya ‘FUFA Super 8’ bwe yawanduddemu SC Villa ku mugatte gwa peneti (6-5). Baasoose kulemagana (1-1) mu ddakiika 90 ne bagenda mu bunnya.

Ddiifiri Ssemmere yagabidde BUL ggoolo ey’ekyenkanyi oluvannyuma lwa Simon Mukisa owa Villa okukuba Reagan Kalyowa ebweru wa bookisi n’agwa mu ntabwe, ddiifiri n’asonga mu peneti. Abazannyi ba Villa baakaayanye nti Mukisa yeesidde bwesuuzi mu ntabwe nga Ssemere takyusaamu. Omutendesi wa Villa, Dusan Stonjovic yeegasse ku bazannyi be okukaayana, ddiifiri n’amuwa kaadi eya kyenvu.

Kkamera z’oku ttivvi zaalaze nga ddiifiri yalabye bubi. Peneti yateebeddwa Sam Sekamatte n’esazaamu ggoolo ya Villa eyateebeddwa Peter Onzima. SC Villa teyeevuma ddiifiri yekka wabula ne kapiteeni waayo, Kenneth Ssemakula ne Ronald Ssekiganda abaalemeddwa okunywesa peneti zaabwe.

Guno mulundi gwakubiri ogw’omuddiring’anwa nga BUL ewandulamu Villa mu mpaka ez’enjawulo. Sizoni ewedde, yagiggye mu Stanbic Uganda Cup ku mutendera gwa ttiimu 32. Kino kyayongedde ejjoogo lya BUL ly’erina ku Villa nga mu nsisinkano zaabwe 8, Villa erinamu wiini emu.

Bakira abawagizi ba BUL bayeeya Villa nti, ‘mubakube baddeyo bawaabe nti twababbye……

Baabadde bajuliza ekyaliwo sizoni ewedde BUL bwe yasooka okuwangula Villa mu Stanbic Uganda Cup n’ewaaba nti bagisalirizza, FUFA n’eragira omupiira guddibwemu. Bwe gwaddibwamu, BUL era n’ewangula. Kati BUL erinze anaagoba wakati wa KCCA ne URA ku Ssande.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *