Abawagizi n’abazannyi b’Essaza lya Bulemeezi baasuze ku ntujjo nga batambuza ekikopo kya masaza ga Buganda kye baawangudde omulundi ogwokusatu mu byafaayo. Ggoolo ya Johnson Ssennyonga ye yawadde batabani ba Kkangaawo obuwanguzi gye yateebye mu ddakiika 76 okumegga Gomba eyazze yeesomye olw’ebyafaayo ng’eyagala kikopo kya mukaaga. Yabadde wiikendi ya ssanyu eri Obuganda ku kisaawe e Wankulukuku,
Abawagizi n’abazannyi b’Essaza lya Bulemeezi baasuze ku ntujjo nga batambuza ekikopo kya masaza ga Buganda kye baawangudde omulundi ogwokusatu mu byafaayo.
Ggoolo ya Johnson Ssennyonga ye yawadde batabani ba Kkangaawo obuwanguzi gye yateebye mu ddakiika 76 okumegga Gomba eyazze yeesomye olw’ebyafaayo ng’eyagala kikopo kya mukaaga.
Yabadde wiikendi ya ssanyu eri Obuganda ku kisaawe e Wankulukuku, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ng’ayaniriza Nnaalinnya Agnes Nnaabaloga eyabadde omugenyi omukulu ng’ekiikirira Ssaabasajja Kabaka ataasobodde kubeera ku fayinolo y’omwaka guno.
Sizoni y’empaka z’Amasaza ga Buganda omwaka guno yatandika June 24 nga Mawokota ekuba Busiro (3-1) mu maaso ga Ssaabasajja Kabaka eyaggulawo sizoni wakati mu ssanyu ku kisaawe e Wankulukuku.
Batabani ba Kitunzi aba Gomba abaabadde tebannakubwamu ku mutendera gwa ‘quarter’ ne Semi bazzeeyo e Kabulassoke ng’ennyindo y’enkata oluvannyuma lwa ggoolo okubeegaana ekikopo ne kibayita mu myagaanya gy’engalo ku ssaawa esembayo.
Bulemeezi kati ewezezza ebikopo bisatu mu byafaayo, kyokka ekyewuunyisa, buli kikopo ebadde ekiwangulira ku ggoolo (1-0). Yakuba Buweekula (1-0) eyateebwa Yunus Ssentamu ku fayinolo ya 2012, n’emegga Busiro (1-0) eya Emmanuel Loki mu 2019.
Omuwanguzi w’ekikopo yakwasiddwa cceeke ya bukadde 12, Gomba eyookubiri obukadde 9, Mawokota eyookusatu 7 ne Buddu abaamalidde mu kyokuna babuuseeyo n’obukadde butaano.
Allan Oryiwoth owa Gomba ye yabadde omuzannyi wa sizoni, Yusuf Mukwana owa Kyaggwe ye yakulembedde abateebi ne ggoolo 7, Abdul Bagenda ggoolokippa wa sizoni ne Kabula ye ttiimu eyasinze empisa.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *