• City Oilers eddayo kwetaba mu z’Africa 2024.

    City Oilers eddayo kwetaba mu z’Africa 2024.0

    Club z’omuzannyo gwa Basketball  12 ez’abasajja, zikakasiddwa okwetaba mu mpaka za Basketball Africa League season ey’okuna, ezigenda okubeerawo okuva mu March okutuuka mu May 2024. Club zino ye City Oilers eya Uganda era egenda kukiika mu mpaka zino omulundi ogw’okubiri ogw’omudiringanwa, ng’okukiika mu mpaka zino yasooka kuwangula liigi ya babinywera eya Uganda. Club endala ye

    READ MORE
  • Mendy ayagala Man City emuliyirire obuwumbi 38000.

    Mendy ayagala Man City emuliyirire obuwumbi 38000.0

    Benjamin Mendy, amaze emyaka ebiri ng’avunaanibwa omusango gw’okukaka abakazi omukwano, ayagala Man City emuliyirire pawundi obukadde 10 [eza Uganda obuwumbi 38,000}. Omufalansa ono agamba nti okuva bwe yateekebwako emisango gino mu September  wa 2021, Man City temusasula musaala. Mendy 29, yaggyiddwaako emisango gino nga kati ali mu Lorient ey’e Bufalansa era asabye kkooti etawulula ensonga

    READ MORE
  • Uganda Premier League ezeemu okuzannyibwa.

    Uganda Premier League ezeemu okuzannyibwa.0

    Liigi ya babinywera eya Uganda Premier League egenda kuddamu okuzannyibwa  n’emipiira 2 mu bisaawe ebyenjawulo oluvanyuma lw’okuwumulamu akumala akaseera, olwa ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes ebadde mu mpaka ez’okusunsulamu amawanga aganaakiika mu mpaka za World Cup wa 2026. Omupiira ogusuubirwa okubaako embiranye gugenda kubeera wakati wa Vipers ng’ettunka ne URA mu kisaawe kya St Mary’s

    READ MORE
  • She Cranes tekiise mu mpaka za Afrika.

    She Cranes tekiise mu mpaka za Afrika.0

    ENKAAYANA n’obutakkaanya mu kibiina ky’omuzannyo gw’okubaka mu ggwanga zizzeemu okulemesa She Cranes ttiimu y’eggwanga ey’okubaka okukiika mu mpaka z’ekikopo kya Afrika omulundi ogwokubiri mu byafaayo bukya zitandikawo mu 2010. Mu 2012, Uganda yagaanibwa okwetaba mu mpaka zino ezaali mu kibuga Dar es Salaam ekya Tanzania lwa bukulembeze bwa Suzan Anek eyali pulezidenti ebiseera ebyo obwali

    READ MORE
  • Montella agumizza abawagizi ba ManU.

    Montella agumizza abawagizi ba ManU.0

    Omutendesi wa Turkey, Vincenzo Montella agumizza abawagizi ba ManU nti bagume ggoolokipa waabwe Altay Bayindir gwe baagula mu Fenerbahce ajja kubakolera omulimu ogw’ettendo. Ggoolokipa ono y’atunuuliddwa okusikira Andre Onana singa tassuuka mu budde obuvune bwe yafunidde ku ttiimu y’eggwanga. Nga Cameroon ewangula Mauritius (3-0) mu z’okusunsulamu abalizannya World Cup ya 2026, Onana, teyagumalaako lwa buvune

    READ MORE
  • Put agumizza Bannayuganda.

    Put agumizza Bannayuganda.0

    Omutendesi wa Cranes, Paul Put agumizza Bannayuganda nti bagenda kuwangula Somlia babanzzeeko ennaku y’okukubwa Guinea ku Lwokutaano mu gwagguddewo egisunsula abalyetaba mu World Cup y’e Mexico, Amerika ne Canada mu 2026. Put, agamba nti Guinea yabasinzeeko kyokka ne ddiifiri, Nkounkou Mvoutou enzaalwa y’e Congo Brazzaville yalamudde ne kyekubiira. Guinea yawangudde {2-1} nga ggoolo ey’obuwanguzi yazze

    READ MORE