Nanziri ye mukazi Munnayuganda eyasooka okukiikirira eggwanga mu mizannyo gya Olympics.. Nanziri omukyala omuggunzi w’eng’uumi alinze ssaawa yokka okulya amatereke n’Omutanzania Sandra Muhamed. Ababiri baakuttunka ku Lwokutaano luno nga June 24 ku PTC Bar and Lounge e Bulenga mu lulwana olusuubirwa okubaako n’obugombe. Baakwabikira mu buzito bwa ‘super fly’ kkiro 52 laawundi 5. Luno lwe
Nanziri ye mukazi Munnayuganda eyasooka okukiikirira eggwanga mu mizannyo gya Olympics..
Nanziri omukyala omuggunzi w’eng’uumi alinze ssaawa yokka okulya amatereke n’Omutanzania Sandra Muhamed.
Ababiri baakuttunka ku Lwokutaano luno nga June 24 ku PTC Bar and Lounge e Bulenga mu lulwana olusuubirwa okubaako n’obugombe.
Baakwabikira mu buzito bwa ‘super fly’ kkiro 52 laawundi 5.
Luno lwe lulwana lwa Nanziri olwokubiri mu bikonde bya pulofeesono ng’olwasoose yakubye Husina Saydi Zamba naye munnansi wa Tanzania tonziriranga mu laawundi esooka olwabaddewo nga April 1 omwaka guno.
Nanziri akakasizza Bannayuganda bw’alinze ffirimbi yokka afukirire Omutanzania ono eng’uumi eziringa amazzi z’anaanyumizaako n’ab’ewaabwe.
Nanziri yataddewo ekyafaayo ng’omukazi eyasoose okukiirira Uganda mu bikonde mu mizannyo gya Olympics omwaka oguwedde mu mizannyo egyabadde e Japan.
Ebikonde abizannyira A&B Boxing Promotions era maneja we Acram Iga mugumu obuwanguzi bubali mu ttaano.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *