Champions League: Empaka zayimiriziddwa.

Champions League: Empaka zayimiriziddwa.

Empaka za champions League ziddamu okuyinda nga kiraabu za Bungereza ziri ‘fresh’ ku banga okufa kwa Nnaabakyala Elizabeth II kwawaliriza abakungu abatwala omupiira mu Bungereza okuyimiriza emipiira gyonna. Waliwo abatendesi abakyanyiga ebiwundu okuli Jurgen Klopp ne Massimiliano Allegri owa Juventus.Kiraabu zonna zikyalina omukisa okuva mu bibinja kubanga zisamba mupiira gwakubiri. Omutendesi Jurgen Klopp alina okutandikira

Empaka za champions League ziddamu okuyinda nga kiraabu za Bungereza ziri ‘fresh’ ku banga okufa kwa Nnaabakyala Elizabeth II kwawaliriza abakungu abatwala omupiira mu Bungereza okuyimiriza emipiira gyonna.

Waliwo abatendesi abakyanyiga ebiwundu okuli Jurgen Klopp ne Massimiliano Allegri owa Juventus.Kiraabu zonna zikyalina omukisa okuva mu bibinja kubanga zisamba mupiira gwakubiri.

Omutendesi Jurgen Klopp alina okutandikira ku Ajax okufuna obubonero obusatu kubanga mu mupiira ogwasoose Napoli yamukubye akapiisi.

Klopp yakubiddwa Napoli ggoolo 4-1 okutuuka okuswala eri abawagizi ba Liverpool era alina okuggyayo ag’omubuto ku Ajax. Ajax nzito era yawangula omupiira ogwasooka ggoolo 2-0 nga bakuba Rangers.Kino kitegeeza nti omutendesi,Alfred Schrender agenda kujja ng’ayagala bubonero okuba n’omukisa okuyitawo mu kibinja.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *