Abaakulembedde ebibinja;Napoli,Man City,Chelsea,Real Madrid,FC Porto, Benfica, Bayern ne Spurs. Abaakutte ekyokubiri;Liverpool,Inter,Dortmund,AC Milan, PSG,Club Brugge,Leipzig ne Frankfurt. Ttiimu ezaavudde mu bibinja bya Champions League leero lwe zitegeera gwe zinaattunka naye ku luzannya lwa ttiimu 16. Okutya okusinga kuli mu bawagizi ba PSG abazze basongebwamu olunwe okuwangula ekikopo kino ne Liverpool,emu ku zikiwangudde emirundi emingi. Ttiimu zombi
Abaakulembedde ebibinja;Napoli,Man City,Chelsea,Real Madrid,FC Porto, Benfica, Bayern ne Spurs.
Abaakutte ekyokubiri;Liverpool,Inter,Dortmund,AC Milan, PSG,Club Brugge,Leipzig ne Frankfurt.
Ttiimu ezaavudde mu bibinja bya Champions League leero lwe zitegeera gwe zinaattunka naye ku luzannya lwa ttiimu 16.
Okutya okusinga kuli mu bawagizi ba PSG abazze basongebwamu olunwe okuwangula ekikopo kino ne Liverpool,emu ku zikiwangudde emirundi emingi.
Ttiimu zombi zaakutte kyakubiri mu bibinja byazo ekizitadde mu kattu k’okusisinkana abanene.Etteeka ligamba nti ttiimu eyakulembera ekibinja ekwata eyamalira mu kyokubiri kyokka ku mutendera guno,abaali mu kibinja ekimu oba abava mu ggwanga erimu tebasisinkana.
Kino kitadde PSG ne Liverpool mu kutya kuba zandigwa ku babbingwa okuli; Bayern oba Real Madrid,bakafulu b’empaka zino.PSG akalulu kandigisuula ku ManCity oba Chelsea nazo ezitali nnyangu.Akalulu kano kaakukwatibwa ku ssaawa8:00 mu kibuga Nyon ekya Switzerland.
Wabula omutendesi wa Liverpool,Jurgen Klopp ategeezezza nti tebalina ttiimu gye batidde era baakweng’anga buli abasala mu maaso ku luzannya luno mu kaweefube gwe baliko okuwangula ekikopo ky’omwaka guno.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *