Cheptegei ne Chesanga omwaka 2023 bagutandikidde mu ggiya.

Cheptegei ne Chesanga omwaka 2023 bagutandikidde mu ggiya.

Munnayuganda omuddusi w’embiro empanvu, Joshua Cheptegei omwaka agutandikidde mu ggiya bw’awangudde emisinde gya kkiromita 10 egya San Silvestre Vallecana egyayindidde mu kibuga Madrid ekya Spain. Cheptegei, yaziddukidde eddakiika 27:09 nga yabadde aluubirira kumenya likodi ye ey’eddakiika 26:36 nga yagiteerawo mu kibuga Valencia ekya Spain mu 2019. Munnansi wa Spain, Mohamed Katir yakutte kyakubiri ku ddakiika

Munnayuganda omuddusi w’embiro empanvu, Joshua Cheptegei omwaka agutandikidde mu ggiya bw’awangudde emisinde gya kkiromita 10 egya San Silvestre Vallecana egyayindidde mu kibuga Madrid ekya Spain.

Cheptegei, yaziddukidde eddakiika 27:09 nga yabadde aluubirira kumenya likodi ye ey’eddakiika 26:36 nga yagiteerawo mu kibuga Valencia ekya Spain mu 2019.

Munnansi wa Spain, Mohamed Katir yakutte kyakubiri ku ddakiika 27:19 nga Jesus Ramos Reviejo naye enzaalwa ya Spain yamalidde mu kyakusatu ku ddakiika 27:52.

Cheptegei abadde yaakassuuka obuvune bwe yafunira mu misinde gy’ensi yonna egya World Athletics Championships omwaka oguwedde bwe yali avuganya mu za mmita 5000.

Prisca Chesang

Omutendera gw’abakazi nagwo gwawanguddwa Munnayuganda Prisca Chesang nga ono kkiromita 10 yaziddukidde eddakiika 30:19 nga yaddiriddwa Francine Niyonsaba enzaalwa ya Burundi mu ddakiika 30:58. Beatrice Chepkoech enzaalwa ya Kenya ye yamalidde mu kyokusatu mu ddakiika 31:06.

Chesang abadde yaakava mu mutendera gw’abaddusi abato ng’omwaka oguwedde ye muddusi yekka eyawangulira Uganda omudaali mu misinde gy’abato abatasussa myaka 20 egya World Athletics Championships egyali mu Cali ekya Colombia. Yawangula omudaali gw’ekikomo mu mmita 5000.

Pulezidenti w’ekibiina ekiddukanya emisinde mu ggwanga ekya Uganda Athletics Federation (UAF), Dominic Otucet yatenderezza omutindo gw’abaddusi bano n’agamba nti omwaka guno balina essuubi nti Uganda yaakwongera okututumuka mu misinde.

“Nneebaza Katonda nti omwaka guno tugutandise bulungi ebweru w’eggwanga. Ekigendererwa kyaffe kwe kulaba nga buli mpaka ez’amanyi ze twetabamu omwaka guno tukomawo n’obuwanguzi,” Otucet bwe yategeezezza.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *