City Oilers eddayo kwetaba mu z’Africa 2024.

City Oilers eddayo kwetaba mu z’Africa 2024.

Club z’omuzannyo gwa Basketball  12 ez’abasajja, zikakasiddwa okwetaba mu mpaka za Basketball Africa League season ey’okuna, ezigenda okubeerawo okuva mu March okutuuka mu May 2024. Club zino ye City Oilers eya Uganda era egenda kukiika mu mpaka zino omulundi ogw’okubiri ogw’omudiringanwa, ng’okukiika mu mpaka zino yasooka kuwangula liigi ya babinywera eya Uganda. Club endala ye

Club z’omuzannyo gwa Basketball  12 ez’abasajja, zikakasiddwa okwetaba mu mpaka za Basketball Africa League season ey’okuna, ezigenda okubeerawo okuva mu March okutuuka mu May 2024.

Club zino ye City Oilers eya Uganda era egenda kukiika mu mpaka zino omulundi ogw’okubiri ogw’omudiringanwa, ng’okukiika mu mpaka zino yasooka kuwangula liigi ya babinywera eya Uganda.

Club endala ye Petro de Luanda eya Angola, US Monastir eya Tunisia, APR eya Rwanda, AS Douanes eya Senegal ne Rivers Hoopers eya Nigeria.

Bangui Sporting Club eya Central African Republic, FUS Rabat eya Morocco, Al Ahly Bengazi eya Libya, Cape Town Tigers eya South Africa ne Dynamo eya Burundi.

Ttiimu zonna zigenda kusengekebwa mu bibinja 3, Savannah Conference, Nile Conference n’ekibinja ekitondedwawo ekipya ekya Kalahari Conference, nga buli kibinja kigenda kubeeramu ttiimu 4.

Club ya Al Ahly eya Misiri yeyawangula liigi ya season ewedde 2022, nga yakuba AS Douanes eya Senegal ku final obugoba 80-65.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *