TTIIMU y’eggwanga ey’abakazi Crested Cranes yaakuttunka ne Tanzania mupiira gw’omukwano nga beetegekera empaka z’okusunsula eza Paris 2024 Women’s Olympic Football Tournament. Uganda yaakuttunka ne Rwanda wiiki ejja mu gw’okusunsulamu abalizannya Olympics omwaka ogujja e Bufalansa. Omupiira guno gusuubirwa okubaako n’obugombe olwa ttiimu zombi okuba nga tezirima kambugu. Enkambi y’abazannyi 34 be batendekebwa e Lugogo nga
TTIIMU y’eggwanga ey’abakazi Crested Cranes yaakuttunka ne Tanzania mupiira gw’omukwano nga beetegekera empaka z’okusunsula eza Paris 2024 Women’s Olympic Football Tournament.
Uganda yaakuttunka ne Rwanda wiiki ejja mu gw’okusunsulamu abalizannya Olympics omwaka ogujja e Bufalansa. Omupiira guno gusuubirwa okubaako n’obugombe olwa ttiimu zombi okuba nga tezirima kambugu.

Enkambi y’abazannyi 34 be batendekebwa e Lugogo nga era bapulo abasinga beeyanjudde ng’omutendesi Ayub Khalifa alindiridde Phiona Nabbumba, Joan Nabirye ne Vanessa Karungi okubeegattako.
Eggulo ku Mmande ttiimu yazannye omupiira gw’omukwano ne ttiimu ya Kampala ennonderere gye baakubye ggoolo 9-2 e Lugogo.
Khalifa agamba nti abazannyi be bali mu mbeera nnungi nga era buli omu akola butaweera okulaba ng’afuna ennamba etandika kuba okuvuganya kwa maanyi nnyo.
Ku Lwokutaano, Uganda ettunka ne Tanzania e Lugogo mu gw’okwegezaamu ogujja okuwa Khalifa ekifaananyi ky’abazannyi abasigala mu nkambi.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *