Cricket Cranes egenda Doha.

Cricket Cranes egenda Doha.

Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gwa Cricket mu Uganda ekya Uganda Cricket Association, krangiridde nti ttiimu y’eggwanga eya Cricket Cranes egenda kwetaba mu mpaka za Bilateral Series ezigenda okubeera mu kibuga Doha ekya Qatar omwezi guno ogwa March. Empaka zino zigenda kumala ennaku 8 nga zizanyibwa, era Uganda Cricket Cranes egenda kuzannya omuzannyo gwayo ogusooka nga 16

Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gwa Cricket mu Uganda ekya Uganda Cricket Association, krangiridde nti ttiimu y’eggwanga eya Cricket Cranes egenda kwetaba mu mpaka za Bilateral Series ezigenda okubeera mu kibuga Doha ekya Qatar omwezi guno ogwa March.

Empaka zino zigenda kumala ennaku 8 nga zizanyibwa, era Uganda Cricket Cranes egenda kuzannya omuzannyo gwayo ogusooka nga 16 omwezi guno ogwa March.

Zino z’empaka Cricket Cranes z’egenda okusooka okwetabamu omwaka guno 2023.

Cricket Cranes ebadde etendekebwa okwetegekera empaka zino, ng’etendekebwa omumyuka w’omutendesi Jackson Ogwang mu kiseera omutendesi ow’okuntiko Lawrence Mahatlane yabadde mitala wa Mayanja mu luwummula.

Mahatlane yakomyewo ku butaka era asuubirwa essaawa yonna okulangirira ttiimu egenda e Qatar olunaku lw’enkya.

Cricket Cranes egenda kweyambisa empaka zino okwetegekera empaka ezenjawulo z’egenda okwetabamu omwaka guno okuli eza ICC Men’s World Cup qualifiers ezinabeera e Namibia.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *