Dauda akyevuma sizoni ewedde.

Dauda akyevuma sizoni ewedde.

NG’EBULA ennaku ssatu zokka empaka za Mbarara City Rally eziggulawo kalenda ya mmotoka z’empaka okuggyibwako akawuuwo, Umar Dauda akyevuma sizoni ewedde engule ya NRC bwe yamuyise mu myagaanya gy’engalo. Ku bubonero 248 bwe yalina, Dauda yatuuka mu mpaka ezaggalawo sizoni ewedde, eza Mosac Kigezi Boona ezaali e Rukungiri nga yeetaaga wiini yokka okusitukira mu ngule

NG’EBULA ennaku ssatu zokka empaka za Mbarara City Rally eziggulawo kalenda ya mmotoka z’empaka okuggyibwako akawuuwo, Umar Dauda akyevuma sizoni ewedde engule ya NRC bwe yamuyise mu myagaanya gy’engalo.

Ku bubonero 248 bwe yalina, Dauda yatuuka mu mpaka ezaggalawo sizoni ewedde, eza Mosac Kigezi Boona ezaali e Rukungiri nga yeetaaga wiini yokka okusitukira mu ngule ya NRC wabula mmotoka ye n’ekuba yingini ku lunaku lwennyini oluggulawo empaka zino.

Agamba nti sizoni ewedde tayagala na kuddamu kugirowozaako kuba mmotoka yatandika okumutawaanya ng’ali mu mpaka za Pearl, wabula n’agikaka okutuuka bwe yamuyiwayo ku ssaawa esembayo, naye mugumu nti omwaka guno agitereezezza.

Wabula yeeraliikiridde etteeka FMU lye yataddewo ery’obutakaka mmotoka kugivuga ssinga eyabikira omupiira wakati mu lugendo ky’agamba nti emipiira gy’ennaku zino tegyesigika.

“Wadde mmotoka yange esalwako obubonero olw’ekiseera ky’okuvuganya mu z’empaka okugiggwaako, ndi mumalirivu nti sizoni eno ng’enda kulwana nnyo okumalira mu bifo ebisava,” Dauda bwe yategeezezza.

Yeebazizza nnyo Wylif Bukenya ne Suzan Muwonge ‘Super Lady’ abaamuyamba okuyingira omuzannyo guno ogumunyumira enny

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *