De Gea agenda mu liigi y’e Saudi Arabia

De Gea agenda mu liigi y’e Saudi Arabia

OLUVANNYUMA lw’okumala kumpi ebbanga lya myezi egisoba mu mukaaga nga talina ttiimu, eyali ggoolokipa wa ManU, David De Gea yandifuna ku ssanyu. Ttiimu ya Al-Shabab mu Saudi Arabia emwogereza agyegatteko ayongere okugiggumiza. Ensonda zaategeezezza enteeseganya za Al Shabab n’omuzannyi ono ziriko we zituuse ng’essaawa yonna bandimulangirira. Al Shabab mwe muzannyira n’eyali omuwuwuttanyi wa Atletico omulala

OLUVANNYUMA lw’okumala kumpi ebbanga lya myezi egisoba mu mukaaga nga talina ttiimu, eyali ggoolokipa wa ManU, David De Gea yandifuna ku ssanyu.

Ttiimu ya Al-Shabab mu Saudi Arabia emwogereza agyegatteko ayongere okugiggumiza. Ensonda zaategeezezza enteeseganya za Al Shabab n’omuzannyi ono ziriko we zituuse ng’essaawa yonna bandimulangirira.

Al Shabab mwe muzannyira n’eyali omuwuwuttanyi wa Atletico omulala Yannick Carrasco nga bali mu kya 11, obubonero buna bwe bubaawula ku ttiimu ezisalwako.

Oluvannyuma lwa ggoolokipa wa Newcastle, Nick Pope okulwala, ensonda zaategeeza nti De Gea agenda kwegatta ku ttiimu eyo kyokka ne kigaana.

Eyali ssita wa ttiimu eyo, Alan Shearer yasaba abakulira ttiimu eyo bamugule naye ne bamutunuulira kyamuli.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *