Ekirooto kya Bufalansa okuwangula World Cup ya rugby ku ttaka lyayo kyaweddewo ku Ssande bwe yakubiddwa South Afrika ‘quarter’ ku bugoba 29-28. Mu busungu, kapiteeni wa Bufalsnsa, Antoine Dupont alumirizza nti ddiifiri Ben O’Keeffe eyalamudde ensiike eno teyabadde ku mutindo. ‘’South Afrika nnungi era yatusinze okuzannya naye n’omutindo gwa ddiifiri gwabuzeemu. Waliwo kaadi gye yabadde
Ekirooto kya Bufalansa okuwangula World Cup ya rugby ku ttaka lyayo kyaweddewo ku Ssande bwe yakubiddwa South Afrika ‘quarter’ ku bugoba 29-28.
Mu busungu, kapiteeni wa Bufalsnsa, Antoine Dupont alumirizza nti ddiifiri Ben O’Keeffe eyalamudde ensiike eno teyabadde ku mutindo.
‘’South Afrika nnungi era yatusinze okuzannya naye n’omutindo gwa ddiifiri gwabuzeemu.
Waliwo kaadi gye yabadde alina okuwa South Afrika n’awewa,’’ Dupont bwe yacwanye.
Ku semi, kyampiyoni South Afrika ekwata Bungereza ate New Zealand ezannya Argentina, eyaggyeemu Wales.
Bungereza yakubye Fiji.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *