“Tuli basanyufu okulaba ng’abazannyi baffe batandise okussa mu nkola obukodyo obupya bwe tubawa,” .. Egimu ku gya liigi ya Eastern egyazanyiddwa: Black Panther 0-1 Busia United Busia Homeboys 0-0 Admin FC Mbale Garage 1-3 Busia Young MYDA 2-2 IUIU JMC Hippos 3-0 Mpumudde FC Iganga young FC 2-0 Busei Budondo 1-2 Kigulu Allidina FC 0-2
“Tuli basanyufu okulaba ng’abazannyi baffe batandise okussa mu nkola obukodyo obupya bwe tubawa,” .. Egimu ku gya liigi ya Eastern egyazanyiddwa:
Black Panther 0-1 Busia United
Busia Homeboys 0-0 Admin FC
Mbale Garage 1-3 Busia Young
MYDA 2-2 IUIU
JMC Hippos 3-0 Mpumudde FC
Iganga young FC 2-0 Busei
Budondo 1-2 Kigulu
Allidina FC 0-2 Bugiri De School
Oh Yes 1-0 Bwondha
Sky sports 1-1 Busia Fisheries

ABAWAGIZI b’omupiira mu bisaawe eby’enjawulo baavudde mu bisaawe nga basanyufu olwa ggoolo ezaayiise nga amazzi mu Eastern Regional League.
Ku kisaawe e Kakindu, ggoolo za Arthur Nabbongo, Farouk Magumba ne Sharif Mento zaayambye JMC Hippos FC okuwuttula Mpummudde FC (3-0). Jinja Hippos yafunye obuwanguzi obwokubiri mu mipiira 6 gye yaakazannya mu liigi eno n’efuna essuubi ly’okwesogga Big League.
“Tuli basanyufu okulaba ng’abazannyi baffe batandise okussa mu nkola obukodyo obupya bwe tubawa,” Joseph Kigobe omutendesi wa JMC Hippos FC bwe yagambye.
Mu gyazanyiddwa ku kisaawe kya Iganga Ssaza Ground, ggoolo za Jamiru Mukungu ne Ali Kiyemba zaayambye Iganga Young FC okukuba Busei FC (2-0) ne beesogga ekifo ekyokubbiri n’obubonero 12.
Kigulu FC y’ekulembedde n’obubonero 13 oluvannyuma lw’okujoogera Budondo FC omwayo n’egikuba (2-1).
Wabula Admin FC y’ekulembedde ekibinja kya Bukedi n’obubonero 17 oluvannyuma lw’okulemagana (0-0) ne Busia Home Boys.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *