Ttiimu z’Ebika 16 zaakuzannya mu ngeri ya kukyaliragana okulondako ebbiri ezineesogga oluzannya lwa quarter. Abaddukanya akakiiko akategeka empaka z’emipiira gy’Ebika by’Abaganda bakakasiza nti gigenda kutojjera ku bisaawe bina eby’enjawulo. Ebika 16 bye byayiseewo okwesogga ebibinja nga bino bigenda kusambibwa ku mutendera gwa kukyaliragana nga bakozesa ebisaawe okuli Wankulukuku, eby’essomero okuli ekya Kawanda SS Budo SS
Ttiimu z’Ebika 16 zaakuzannya mu ngeri ya kukyaliragana okulondako ebbiri ezineesogga oluzannya lwa quarter.
Abaddukanya akakiiko akategeka empaka z’emipiira gy’Ebika by’Abaganda bakakasiza nti gigenda kutojjera ku bisaawe bina eby’enjawulo.
Ebika 16 bye byayiseewo okwesogga ebibinja nga bino bigenda kusambibwa ku mutendera gwa kukyaliragana nga bakozesa ebisaawe okuli Wankulukuku, eby’essomero okuli ekya Kawanda SS Budo SS ne Wakissha.
Omuwandiisi w’akakiiko akaddukanya empaka zino Gerald Katamba yategezezza nti ‘Tugenda kuzannya kokutandiika ne Lwokuna, tuddemu ku Mmande nga july 18 mu bibinja byonna ebina’ Mu ngeri y’emu abookubaba badenda kuba battunka ku Lwomukaaga luno ku kisaawe kyw St.Lawrence University.
Ebibinja bwe byasengekeddwa.
Ekibinja A: musu, Nte, Ngeye,Nsenene.
Ekibinja B:Mpindi,Lugave,Mbogo,Mmamba kakoboza.
Ekibinja C:Kinyomo,Ffumbe,Mamba Namakaka,Mutima omuyanja.
Ekibinja D:Kkobe, Ndiga,Balangira ne ngonge.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *