Jurgen Klopp. 1.Notisi z’abazibizi, Klopp alina okwongera ebirungo mu notisi z’abazibizi ku banga ttiimu bagiteebamu nnyo naddala ffoomu ya Virgil Van Dijk eriko akabuuza ate nga Matip ne Lbrahima Konate bakyalina obuvune. 2.Okufuna ssita kola ekyenjawuli, Klopp alina okufalaasira Mohammed Salah ne Luiz Diaz okukozesa emikisa gye bafunye ku Ajax nga tennatabuka kubanga balina obunafu
Jurgen Klopp.
1.Notisi z’abazibizi, Klopp alina okwongera ebirungo mu notisi z’abazibizi ku banga ttiimu bagiteebamu nnyo naddala ffoomu ya Virgil Van Dijk eriko akabuuza ate nga Matip ne Lbrahima Konate bakyalina obuvune.
2.Okufuna ssita kola ekyenjawuli, Klopp alina okufalaasira Mohammed Salah ne Luiz Diaz okukozesa emikisa gye bafunye ku Ajax nga tennatabuka kubanga balina obunafu mu kisenge ne mmidi ensangi zino wadde Thiago Alcantara takomyewo.
3.Okuleeta Alcantara, Klopp alina okuleeterawo Alcantara mu mmidi akubewo ne Fabinho wadde Jordan Henderson akyali ku ndiri.
4. Nunez okuba ku ffoomu, Klopp alina okujjukiza Darwin Nunez ne Ferminho nti balina okuteeba ttiimu akendeeze ku puleesa naddala ku bbaaka ebadde emira ggoolo empitirivu mu liigi ne Champions League sizoni eno.Nunez baamuleeta ng’omusika wa Mane naye ekintu kye kikyabulamu wadde awa essuubi singa ttiimu etereera.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *