Ekika ky’embwa n’Engo beebaggulawo emipiira gy’ebika nga 11 June e Kasana.

Ekika ky’embwa n’Engo beebaggulawo emipiira gy’ebika nga 11 June e Kasana.

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yatongozza emipiira gy’ebika by’Abaganda egy’omwaka guno nga gino gigenda kuggulwawo nga June 11,2022 ku kisaawe e Kasana-Luweero mu ssaza ly’e Bulemeezi. Mayiga yasinzidde Bulange Mmengo  n’ategeeza nti ekika ky’Engo ky’ekigenda okukyaza ekika ky’Embwa mu mupiira ogunaggulwawo Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II. Katikkiro Mayiga yalaze obukulu bw’ebika mu Buganda

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yatongozza emipiira gy’ebika by’Abaganda egy’omwaka guno nga gino gigenda kuggulwawo nga June 11,2022 ku kisaawe e Kasana-Luweero mu ssaza ly’e Bulemeezi.

Mayiga yasinzidde Bulange Mmengo  n’ategeeza nti ekika ky’Engo ky’ekigenda okukyaza ekika ky’Embwa mu mupiira ogunaggulwawo Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II.

Katikkiro Mayiga yalaze obukulu bw’ebika mu Buganda ng’emu ku mpagi ebizimba Obwakabaka era yategeeza nti eggwanika lya Buganda ligenda kuvujjirira empaka zino n’obukadde 130 mu kweyubula kwaazo kuno okuggya.

Ye Minisita avunanyizibwa ku by’emizannyo mu Buganda Henry Sekabembe Kiberu yeebazizza ab’ekika ky’Olugave olw’okukomyawo engabo ng’eno yeegenda okuwakanirwa omwaka guno.

Ye Omukubiriza w’Olukiiko lwa Abataka abakulu b’ebika mu Buganda, Namwama Augustine Kizito Mutumba yakubiriza abazzukkulu mu bika okujjumbira empaka zino kubanga buvunanyizibwa bwaabwe okutumbula ebika.

Hajj Sulaiman Magala nga ye Ssentebe w’Olukiiko olutegese lw’empaka zino yayanjudde Olukiiko lwagenda okukola nalwo n’ategeeza nti bagenda kufuba okuzza empaka zino ku mutindo.

Ekika ky’embogo kyekyasemba okuwangula empaka zino mu 2019 ate Ennyonyi Ennyange neewangula engabo y’okubaka.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *