Empaka za Afrika AFCON zitandika wiikendi ejja.

Empaka za Afrika AFCON zitandika wiikendi ejja.

Empaka za Afrika {AFCON} zitandika wiikendi ejja {January 13} mu Ivory Coast. Liverpool y’emu kw’ezo eziyinza okukosebwa olwa Salah. Omumisiri ono alina alina ggoolo 14 ne asisiti 8 mu Premier sizoni eno {yeetabye mu ggoolo 22} kyokka awamu Liverpool yaakateeba 43. Agirese ku ntikko naye ayanza okugisanga ng’evuddeyo. Singa Misiri {Egypt} etuuka ku fayinolo nga

Empaka za Afrika {AFCON} zitandika wiikendi ejja {January 13} mu Ivory Coast.

Liverpool y’emu kw’ezo eziyinza okukosebwa olwa Salah.

Omumisiri ono alina alina ggoolo 14 ne asisiti 8 mu Premier sizoni eno {yeetabye mu ggoolo 22} kyokka awamu Liverpool yaakateeba 43.

Agirese ku ntikko naye ayanza okugisanga ng’evuddeyo.

Singa Misiri {Egypt} etuuka ku fayinolo nga bwe kyali mu AFCON esembyeyo, Salah waakusubwa emipiira 7 omuli Arsenal mu FA Cup, semi ya Carabo Cup nga battunka ne Fulham, Bournemouth, Chelsea, Arsenal ate okudda kwa De Bruyne okuva mu buvune kyeraliikiriza b’evuganya nabo ku kikopo.

Tuwese ekkoona Guardiola w’asingira obukugu: Mu sizoni ya 2020/12 yamalako 12 nga takubiddwaamu, Sizoni ewedde yagoba Arsenal n’amala emipiira 16 nga takubiddwaamu.

Ne mu eno ayinza okubakub ‘sumagiza’ n’abatwalako ekikopo kuba talina muzannyi agenda mu AFCON wadde Asia.

Spurs nayo teri bulungi kuba Bissouma, Sarr ne Son tebagenda kubeerawo Ow’Akadirisa Man City eriko ennusu bw’ogisibirako okutwala ekikopo.

Bw’ogissaako 100,000/- ofunamu 200,000/-.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *