EMPAKA z’okubaka ez’abayiga eza National Novices zaakubaawo nga March 17 ne era zaakuzannyibwa mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo. Omwaka guno empaka zongeddwamu ebirungo nga zaakutandika na kuzannyibwa ku mutendera gwa ligyoni. Empaka zino zeetabwamu amasomero ku ddaala lya siniya , pulayimale n’amatendekero aga waggulu. Essomero erinaasinga mu mpaka zino ku buli ligyoni lyakuyitawo okuzanya mu zaakamalirizo eza
EMPAKA z’okubaka ez’abayiga eza National Novices zaakubaawo nga March 17 ne era zaakuzannyibwa mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.
Omwaka guno empaka zongeddwamu ebirungo nga zaakutandika na kuzannyibwa ku mutendera gwa ligyoni.
Empaka zino zeetabwamu amasomero ku ddaala lya siniya , pulayimale n’amatendekero aga waggulu.
Essomero erinaasinga mu mpaka zino ku buli ligyoni lyakuyitawo okuzanya mu zaakamalirizo eza National Novices Championships ez’okubeera e Mbale. Empaka za bayiga zizannyibwamu amasomero ga siniya, pulayimale ne yunivaasite era Omuzannyi okukkirizibwa okwetaba mu mpaka zino ateekwa okuba nga tazizanyangako.

Essomero lya Buddo SS lye lyokukyaza empaka zino mu Kampala. Essomero erinaasinga lyakukiika mu mpaka ez’akamalirizo eza National Novinces Rally Championships ez’okubeera e Mbale mu June w’omwaka guno.
Alice Nanteza, amyuka akulira akakiiko akategesi k’empaka mu kibiina ekiddukanya omuzannyo gw’okubaka mu ggwanga ekya Uganda Netball Federation ategeezez za nti empaka zino zezimu ku ezo ezibayamba okuzuula ebitone bya bamusaayi muto.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *