Empaka z’okuwuga ez’amasomero ga siniya zituuse.

Empaka z’okuwuga ez’amasomero ga siniya zituuse.

Abawuzi abali mu 600 be basuubirwa okuvuganya mu mpaka z’okuwuga ez’amasomero ga siniya eza National Secondary Schools Inter swimming Gala. Empaka zino zaakubaawo ku Lwomukaaga lwa wiiki eno ku ssomero lya Green Hill Academy e Kibuli. Empaka zino za mulundi gwa munaana nga zisuubirwa okwetabwamu amasomero agali eyo mu 30 okuva mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo. Moses

Abawuzi abali mu 600 be basuubirwa okuvuganya mu mpaka z’okuwuga ez’amasomero ga siniya eza National Secondary Schools Inter swimming Gala.

Empaka zino zaakubaawo ku Lwomukaaga lwa wiiki eno ku ssomero lya Green Hill Academy e Kibuli.

Empaka zino za mulundi gwa munaana nga zisuubirwa okwetabwamu amasomero agali eyo mu 30 okuva mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.

Moses Mwase, akulira ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’okuwuga mu ggwanga ategeezezza nga ekigendererwa kyabwe bwe kiri eky’okutunda omuzannyo gw’okuwuga mu masomero n’okwongera okugwagazisa bamusaayimuto.

Empaka zino zaali zaasemba kutegekebwa mwaka guwedde 2022 nga Green Hill Academy be baaziwangula.

Empaka zino zitegekebwa ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’okuwuga mu ggwanga ekya Uganda Swimming Federation buli mwaka n’ekigendererwa eky’okutumbula omuzannyo gw’okuwuga mu ggwanga.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *