Engeri gye babbyemu Mawejje ng’asiibula.

Engeri gye babbyemu Mawejje ng’asiibula.

Sisobola kugula tiketi ya mutwalo gumu ate ng’omupiira gwa 20,000.Bannayuganda bansobera,baagala nnyo okukuba enjawulo,ne ku mupiira ogusiibula Mawejje nagwo bagukubyeko enjawulo?! Bw’atyo omuwagizi omu bwe yayombye nga bacanga tiketi ku mupiira gwa Tony Mawejje ku kisaawe kya KCCA e Lugogo mu Kampala. Omuwagizi ono ataayagadde kumwogera mannya, yagambye nti kyannaku okulaba ng’abantu bakuba enjawulo ku

Sisobola kugula tiketi ya mutwalo gumu ate ng’omupiira gwa 20,000.Bannayuganda bansobera,baagala nnyo okukuba enjawulo,ne ku mupiira ogusiibula Mawejje nagwo bagukubyeko enjawulo?! Bw’atyo omuwagizi omu bwe yayombye nga bacanga tiketi ku mupiira gwa Tony Mawejje ku kisaawe kya KCCA e Lugogo mu Kampala.

Omuwagizi ono ataayagadde kumwogera mannya, yagambye nti kyannaku okulaba ng’abantu bakuba enjawulo ku musambi waffe.Omuwagizi ono yagenze mu maaso n’agamba nti ,yabadde tannatuuka ku mulyango gwa kisaawe,abavubuka abaabadde batunda tiketi ng’eya 20,000 bagikuguza 10,000.

Baamusazeeko ne bamugamba nti Muzeeyi leeta omutwalo gumu ofune tiketi eri ku alaali. Wabula omuwagizi ono yagaanye ng’agamba nti yazze kuwagira Mawejje afuneyo ku ssente so si kugula tiketi za bicupuli.

TIKETI BABADDE TEBAZIYUZA; Omuwagizi ono, yagenze mu maaso n’agamba nti obwedda bakebera ku mulyango, beefuula ng’abakebera tiketi n’akuuma, olwo nga ggwe bakugamba oyingire kumbe tiketi tebaziyuzizza ne bazifulumya ne bazitunda ku layisi bafuneko enjawulo.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *