FAST5 Netball World Series; She Cranes,ttiimu y’eggwanga ey’okubaka eraze amaanyi bw’ewangudde Australia (32-40) bakyampiyoni b’ensi yonna.Obuwanguzi bwewuunyisizza bangi okuva She Cranes bw’etaagenda ne kapiteeni waayo,Peace Proscovia olw’obubune. Baabadde mu mpaka za FAST5 World Netball Series e New Zealand,She Cranes gye yamalidde mu kifo ekyokutaano ku mulundi gwayo ogusoose okuzeetabamu. Nga tennazannya Australia,She Cranes yasoose kukuba
FAST5 Netball World Series;
- New Zealand 49-32 Uganda
- England 38-34 Uganda
- Uganda 33-22 Jamaica
- Uganda 32-30 Australia
- Uganda 22-27 SouthAfrika
- Uganda 32-10 Jamaica.
She Cranes,ttiimu y’eggwanga ey’okubaka eraze amaanyi bw’ewangudde Australia (32-40) bakyampiyoni b’ensi yonna.Obuwanguzi bwewuunyisizza bangi okuva She Cranes bw’etaagenda ne kapiteeni waayo,Peace Proscovia olw’obubune.
Baabadde mu mpaka za FAST5 World Netball Series e New Zealand,She Cranes gye yamalidde mu kifo ekyokutaano ku mulundi gwayo ogusoose okuzeetabamu.
Nga tennazannya Australia,She Cranes yasoose kukuba Jamaica (33-22) mu gy’ekibinja wabula bwe yakivuddemu yawanguddwa South Afrika (27-22),Bungereza (38-34) ne New Zealand (49-32).
Oluvannyuma yaddigganye ne Jamaica okulwanira ekyokutaano, Uganda n’etimpula (32-10) .Okukuba Australia kyatangaazizza emikisa gya Uganda okusigala mu kyomukaaga mu nsi yonna.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *