Bya Jimmy Nteza Liigi ya babinywera ey’ekibinja eky’okubiri eya Biigi liigi yakomekerezeddwa wiiki ewedde nga Blacks Power FC, Maroons ne Kyetume FC zezaayiseemu okutuuka mu liigi enkulu. Embiranye yabadde yamanyi ku lunaku olusembayo nga ttiimu nnya zonna zaabadde n’omukisa oguyitawo nga essatu ezaayiseewo zaabadde zivuganya wamu ne Kataka FC era nga eno Kyetume FC gyeyawangudde
Bya Jimmy Nteza
Liigi ya babinywera ey’ekibinja eky’okubiri eya Biigi liigi yakomekerezeddwa wiiki ewedde nga Blacks Power FC, Maroons ne Kyetume FC zezaayiseemu okutuuka mu liigi enkulu. Embiranye yabadde yamanyi ku lunaku olusembayo nga ttiimu nnya zonna zaabadde n’omukisa oguyitawo nga essatu ezaayiseewo zaabadde zivuganya wamu ne Kataka FC era nga eno Kyetume FC gyeyawangudde ku goolo 3-2. Kirabbu ya Proline FC, Nyamityobora FC ne MYDA FC zezaasaliddwako.
Kyetume FC yasembayo okulabikako mu liigi yababinywera mu sizoni ya 2020/21 era nga yaknganya obubonero 23 nekwata kya 14 nga yasalwako ne MYDA wamu ne Kitara FC. Eno emaze sizoni emu wansi, wabula nga sizoni ejja yakukomawo. Ssekanorya akuleetedde ensonga eziyambye Kyetume okudda mu liigi ya babinywera.
Obumanyirivu bw’omutendesi Mutono:
David Mutono Katono ye mutendesi wa Kyetume era nga amaze ebbanga nga ali ne ttiimu eno erisukka mu myaka nga esatu. Ono alina layisinsi eya CAF B era nga ebbanga lyamaze ku Kyetume, amanyi embeera yawo n’abasambi abasing obungi abategeera ekimuleetedde okufuna lizaati ennungi. Mutono yakola kinene ku kusigala kwa basambi abaludde ku ttiimu nga Baker Buyala, ate nga akoze n’abatendesi bangi nga Jackson Mayanja, Livingstone Mbabazi wamu ne Alex Isabirye. Ono kino kimuwadde embavu okkwasaganya ttiimu najizaayo mu liigi.
Omutindo gwa Ezra Bidda ne Ezra Kaye.
Abateebi ba Kyetume FC bano babadde n’omutindo ogw’enjawulo mu kuteeba amagoolo nga bo babiri bakubye goolo 24 ku goolo 43 eziteebeddwa ttiimu yonna mu sizoni yonna. Kaye Ezra Kizito ateebye goolo 14 era nga abadde wakubiri mu bateebi ate nga ye Ezra Bida yateebye goolo 10. Kino kiwadde Kyetume enkizo ey’okuteeba amagoolo amanji mu liigi.
Okujja kwa Yusuf Saka mu katale ka Janwari.
Yusuf Saka yava mu Arua Hill neyegatta ku Kyetume ku bwazike naye omutindo gwe gubadde mulungi nnyo era nga ayambye kinene ttiimu eno naddala akaseera Ezra Bida keyagenderako okusambira South Sudan. Ono ayongedde amanyi ku Kyoto era nga ateebye goolo mukaaga mu luzannya olw’okubiri lwokka.
Enkwatagana ya bakulembeze ne Sentebe.
Bano nga bakulemberwa Sentebe Omw. Rueben Kaggwa, basobodde okukwatagana mu kutambuza ensonga za ttiimu naddala mu kujjivujirira ne nsimbi ate n’okukola ku nsonga eziruma abasambi nga omusala, entambula n’ebirala. Okwawukanako ne sizoni endala, endoolito mu Kyetume Fc kuluno zibadde ntono.
Okuvaawo kwa Jackson Mayanja.
Guno nagwo gwajja nga mukisa eri kirabbu, olw’ensonga nti Mayanja yali yeefuze ensonga za ttiimu ez’ekikugu nga tekiwa balala bbeetu likola. Ono era ebiseera ebisinga yabadde atuulawo nga omutendesi nga kino kibadde kiziyizannyo omutendesi Mutono okukwatamu. Mayanja kati abadde ku AS Kigali eya Rwanda ne Mike mutebi naye nga baakwatiddwa ku nkoona.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *