Enteekateeka zonna  eziggulawo  emipiira gy’Ebika bya Buganda ziwedde era Ssaabasajja Kabaka asiimye okulabikako.

Enteekateeka zonna  eziggulawo  emipiira gy’Ebika bya Buganda ziwedde era Ssaabasajja Kabaka asiimye okulabikako.

Minisita avunaanyizibwa ku by’emizannyo n’Okwewummuzaamu mu Buganda, Owek. Henry Ssekabembe Kiberu ategeezezza nti enteekateeka zonna  eziggulawo  emipiira gy’Ebika bya Buganda ziwedde era Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okuziggulawo ku Lwomukaaga luno e Kasana Luweero mu Bulemeezi. “Twogera okutegeeza abantu ba Kabaka mwenna nti wasigadde ssaawa busaawa ku nsonga y’okuggulawo emipiira gy’Ebika. Nga

Minisita avunaanyizibwa ku by’emizannyo n’Okwewummuzaamu mu Buganda, Owek. Henry Ssekabembe Kiberu ategeezezza nti enteekateeka zonna  eziggulawo  emipiira gy’Ebika bya Buganda ziwedde era Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okuziggulawo ku Lwomukaaga luno e Kasana Luweero mu Bulemeezi.

“Twogera okutegeeza abantu ba Kabaka mwenna nti wasigadde ssaawa busaawa ku nsonga y’okuggulawo emipiira gy’Ebika. Nga bwetwakakasiddwa olunaku lw’eggulo ku ssaawa 7, Katikkiro ajja kutuuka ku kisaawe e Kasana ate ku ssaawa 8 n’eddakiika 20, Ssaabasajja asiimye okulabikako eri Obuganda e Kasana Luweero,” Owek. Ssekabembe bw’ategeezezza.

Okusinziira ku Minisita Ssekabembe mu lutabaalo lwe balimu olw’okuzza Buganda ku ntikko, telugenda kubeera lwangu era tewajja kubeerawo bugobe kutaasa mbeera bwatyo nasaba abantu bonna okuwaayo obudde basobole okwaniriza Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka era bafube okubeera mu bisaawe.

Olunaku lw’ eggulo, Omumyuka Asooka owa Katikkiro Owek. Twaha Kaawaase Kigongo yakiggumiza ng’ Empologoma bwegenda okuggulawo empaka zino ng’ekika ky’Embwa kivuganya n’Engo era nategeeza nti gino gibadde gimaze emyaka 2 nga tegizannyibwa olw’ekirwadde ki COVID-19.

Owek. Kaawaase yannyonnyodde nti wakusookawo omupiira gw’okubaka  ku ssaawa 7 ez’emisana wakati w’Embwa n’Engo ate olwo ku ssaawa 9 ez’olweggulo ogw’abasajja gusambibwe.

Ono ategeezezza nti emiryango gigenda kuggulwawo ku ssaawa 4 ez’okumakya nabasaba okukuuma ebiragiro by’abateesiteesi n’ab’ebyokwerinda okusobola okutambuza obulungi enteekateeka eno.

Ye Ssentebe w’olukiiko olutegeka empaka zino, Hajji Sulaiman Magala yeebazizza Bannabulemeezi olw’enteekateeka ennungi gyebakoze era nakunga Abaganda bonna buli omu okugenda awagire ekika kye era babugirize Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *