ERIK TEN HAG BYALINA OKOLA OKUTEREEZA MAN U.

ERIK TEN HAG BYALINA OKOLA OKUTEREEZA MAN U.

Wiiki ewedde kirabbu ya Manchester United esambira mu kibinja kya babinywera mu ggwanga lya Bungereza yakakasizza nga weronze omutendesi wa Ajax Amsterdam Erik Ten Hag ku butendesi bwa bbanga lya myaka 3 okutuusa mu mwaka gwa 2025 nga ono ye musika owokudda m bigere bya Ole Gunna Solskjaer eyagobebwa ku nkomerero y’omwaka oguwedde. Ten Hag

Wiiki ewedde kirabbu ya Manchester United esambira mu kibinja kya babinywera mu ggwanga lya Bungereza yakakasizza nga weronze omutendesi wa Ajax Amsterdam Erik Ten Hag ku butendesi bwa bbanga lya myaka 3 okutuusa mu mwaka gwa 2025 nga ono ye musika owokudda m bigere bya Ole Gunna Solskjaer eyagobebwa ku nkomerero y’omwaka oguwedde. Ten Hag weyeegatidde ku Man U nga ttiimu teri mu mbeera nnungi, oluvannyuma lwokwolesa omutindo omubi bukyanga omutendesi Sir Alex Ferguson avaawo. Ssekanorya akubidde ttoocci mu biki Erik Ten Hag byalina okunywererako wanaba wakutereeza Man U.

1. Okuleetawo obumu mu ttiimu.

Ekimu ku bintu ebitawanyiza Man u okumala ebbanga ze njawukana eziri mu ttiimu wakati wa basambi, oluusi n’abatendesi nga abasambi abamu bakiraga ne ku kisaawe nti beetamiddwa Man U. kino omutendesi Ten Hag kyalina okusookerako atereeze akasenge ka ttiimu.
2. Okuggulayo abasambi ab’omuziinzi.

Man U yeetaga okuleetayo abasambi abalunji nga newebataba ba bbeeyi ate nga baana bato omutendesi banaasobola okwesiga n’okuzimbirako. Kino kitegeeza nti Ten Hag yennyini alina okwenyigira mu kugula kuno kubanga mutendesi mulungi era abadde aleeta abasambi ku Ajax ensi betamanyi ate nebakuba eddiba eddungi.

3. Okutunda ba kibulamu.

Ebbanga Ten Hag lyamazze nga ayogerezeganya ne Man U, amanyi abasambi ba kyakayiga, ba kibulamu ne migangattika egyetaaga okutunda nga bano batwala ebifo byabwerere nga nabamu kubano sizoni eggwako nga tebasambyeyo mipiira jiwera 5. Bano basaana kutundibwa oba obutazza ndagaano zaabwe bujja.

4. Okukakasa okusigala kwa basambi ab’enkizo.

Waliwo abasambi ab’enkizo nga Cristiano Ronaldo ne Paul Pogba n’abalala abaagala okutambulamu olw’okukola obubi okwa ttiimu. Kino Ten Hag alina okukisalira amagezi abale oba abasambi bano akyabetaaga, afube okubasigaza azimbireko ttiimu ye.

5. Okuzimba ttiimu kabiriiti.

Emu ku nsonga ezigaanye Man U okuddamu okufuuka ttiimu eyamanyi, bwebutayagala kuzimba. Eyagala ewangule mu ngeri ya kuzinduukiriza, eyagala kuteeekamu ssente ewangule naye nga omupiira gwe nnaku zino gwa kuzimba. Kino Ten Hag akiteegera kubanga abadde akikola ku Ajax, alina okukireeta ne ku Man U, nga akozesa ebbanga erya sizoni nga ssatu ate era nga ne Man U emuwa akadde akamala.

6. Okutereeza ebitongole byonna.

Ten Hag alina okuteeka amanyi mu kutereeza ebintongole byonna naddala ekizibira n’ekiteeba amagoolo. Kino kitegeeza nti alina okufuna abasambi bagattamu okunyweza ebitongole bino. Mu Man U ekitongole ekikwata goolo kyokka kyekiringa ekirungi, ebisigadde byetaaga kwongerako.

Singa Erik Ten Hag anakola bino, nga kwogasse Man U okumuwa obudde, Man U esobola okuddamu okuvuganya.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *