Essanyu n’essuubi byeyongedde mu nkambi ya Gazelles

Essanyu n’essuubi byeyongedde mu nkambi ya Gazelles

ESSANYU n’essuubi byeyongedde mu nkambi ya Gazelles (ttiimu y’eggwanga ey’abawala ba basketball), abazannyira ebweru w’eggwanga babiri bwe bakakasizza okujja okwegatta ku ba wano okulwanira ekikopo kya Zone V wiiki ejja mu MTN Arena e Lugogo. Maria Najjuma 19, azannyira mu NBA Africa Women’s Academy mu Senegal ne Jannon Otto okuva mu Musel Pikes mu Luxembourg

ESSANYU n’essuubi byeyongedde mu nkambi ya Gazelles (ttiimu y’eggwanga ey’abawala ba basketball), abazannyira ebweru w’eggwanga babiri bwe bakakasizza okujja okwegatta ku ba wano okulwanira ekikopo kya Zone V wiiki ejja mu MTN Arena e Lugogo.

Maria Najjuma 19, azannyira mu NBA Africa Women’s Academy mu Senegal ne Jannon Otto okuva mu Musel Pikes mu Luxembourg batuuka ku Sunday mu ggwanga okwongera amaanyi mu Gazelles.

Eggulo (Lwakubiri) Nicholas Natuhereza, omumyuka w’omutendesi yasazeeko abazannyi bana kw’abo 17 b’abadde nabo mu kutendekebwa wiiki ssatu emabega n’asigaza 13 be yatutte mu nkambi ey’okusuzibwayo ku wooteeri ya Onomo e Nakasero gye bava okutendekerwa mu MTN Arena e Lugogo.

Angella Namirimu ne Rebecca Susan Aanyu (aba KCCA Leopards), Maureen Amoding (JT Lady Jaguars) ne Sarah Namale (Nabisunsa) be baasaliddwaako, wabula ku Ssande oluvannyuma lwa Najjuma ne Otto okutuuka, omutendesi waakwongera okusalako abalala 4 okusigaza 12 abalina okwetaba mu za Zone V.

“Amawulire ga Najjuma ne Otto gatuwadde essanyu kuba bazannyi ba nkizo nnyo olw’obumanyirivu bwe bagenda okwongera mu bazannyira wano era tetwagala ttiimu z’ebweru kujja wano zitutwaleko ekikopo,” Natuhereza bwe yategeezezza.

Eza Zone V zaakuzannyibwa wakati wa February 14-19, mu MTN Arena e Lugogo, Uganda ebadde yakoma okukyaza empaka zino wakati wa June 26 ne July 1, 2019. Omulundi guno amawanga okuli; Misiri, Rwanda, South Sudan, Kenya ne Uganda ge gagenda okuttunka.

Ttiimu emu eneeziwangula yaakwegatta mu ttiimu eza zooni endala ku lukalu lwa Africa okwetaba mu za ‘Women Afrobasket’ mu kibuga Kigali ekya Rwanda mu July w’omwaka guno.

Abazannyi abasigadde mu nkambi

Flavia Oketcho, Brenda Ekone, Hope Agnes Akello, Rita Imamishimwe ne Evelyn Nakiyingi (aba JKL Lady Dolphins), Bridget Aber, Shakira Nanvubya ne Agatha Kamwada (aba UCU Lady Canons), Zainah Lokwameri ne Sarah Ageno (aba JT Lady Jaguars), Shilla Lamunu (Magic Stormers), Perus Nyamwenge (KIU Rangers), Leticia Awor (KCCA Leopards).

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *