Abakiise ba Bungereza (Arsenal ne ManU) mu Europa bakomawo leero mu nsiike nga balwana kufuna wiini bakulembere ebibinja mwe bali. ManU ekyalira Sociedad ng’eyagala kwesasuza kye yagikola mu luzannya olwasooka ng’egiriivula ntikko.Sociedad ekulembedde n’obubonero 15 nga ManU eri mu kyokubiri ku 12 yeetaaga egiwangulire ne ggoolo 2-0 okudda ku ntikko. Mu mupiira ogwasooka,Sociedad yalumba ManU
Abakiise ba Bungereza (Arsenal ne ManU) mu Europa bakomawo leero mu nsiike nga balwana kufuna wiini bakulembere ebibinja mwe bali.
ManU ekyalira Sociedad ng’eyagala kwesasuza kye yagikola mu luzannya olwasooka ng’egiriivula ntikko.Sociedad ekulembedde n’obubonero 15 nga ManU eri mu kyokubiri ku 12 yeetaaga egiwangulire ne ggoolo 2-0 okudda ku ntikko.
Mu mupiira ogwasooka,Sociedad yalumba ManU ku Old Trafford n’egikuba (1-0) wabula ku luno Erik ten Hag agamba ayagala kwesasuza.
Mu ngeri y’emu,Arsenal ekulembedde ekibinja A n’obubonero 12,ejja kuva ku ntikko singa ekubwa oba n’ekola amaliri ne Zurich ate PSV n’ekuba Bodo/Glimt. PSV eri mu kyakubiri n’obubonero 10 wabula esinga Arsenal enjawulo ya ggoolo.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *