Express FC yaakuzza endagaano ne Odoch.

Express FC yaakuzza endagaano ne Odoch.

Oluvannyuma lwa Express FC okulangirira ssentebe omuggya Ssuubi Kiwanuka, James Odoch abadde omutendesi wa ttiimu eno awadde abawagizi essuubi ly’okuzza endagaano ye obuggya okwekuumira ku butendesi bwa ttiimu.  Ono endagaano ye yabadde oweddeko omwezi guno wabula asuubirwa okussa omukono ku ndagaano ya mwaka gumu okusobola okuyamba ttiimu okuwangula ebikopo sizoni ejja.  Odoch ye yasikira Wasswa

Oluvannyuma lwa Express FC okulangirira ssentebe omuggya Ssuubi Kiwanuka, James Odoch abadde omutendesi wa ttiimu eno awadde abawagizi essuubi ly’okuzza endagaano ye obuggya okwekuumira ku butendesi bwa ttiimu. 

Ono endagaano ye yabadde oweddeko omwezi guno wabula asuubirwa okussa omukono ku ndagaano ya mwaka gumu okusobola okuyamba ttiimu okuwangula ebikopo sizoni ejja. 

Odoch ye yasikira Wasswa Bbosa ku butendesi bwa Express gwe yali amyuka mu kaseera ako mu sizoni ya 2020/21 bwe baayamba ttiimu okusitukira mu liigi saako n’ekikopo kya CECAFA Kagame Cup. 

Ono atendeseeko ttiimu okuli, Holdings FC eyasaanawo, JMC Hippos, Uganda Revenue Authority FC, Nyamityobora FC ne Ntinda United Football Club. 

Mu ngeri y’emu, Express yalangiridde Ashraf Miiro ng’akulira emirimu mu ttiimu eno ng’asikirwa Isaac Mwesigwa eyegasse ku SC Villa. 

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *