JONAS Kansiime akulembedde ku ngule ya Autocross aweze okwongera okulaga amaanyi bw’anaaba yeetabye mu z’abayiga ez’okujjukirirako eyali Sipiika wa Paalamenti, Jacob Oulanya.Empaka zino etuumiddwa ‘Jacob Oulanya Memorial Autocross and Enduro Challenge 2023’ ze z’omulundi ogwokubiri ku kalenda y’omwaka guno nga zaakuvugibwa wiiki ejja (March 24-26) mu disitulikiti y’e Omoro.Omukolo gw’okuzitongoza gwakuliddwaamu Norbert Mao, minisita w’ebyamateeka
JONAS Kansiime akulembedde ku ngule ya Autocross aweze okwongera okulaga amaanyi bw’anaaba yeetabye mu z’abayiga ez’okujjukirirako eyali Sipiika wa Paalamenti, Jacob Oulanya.
Empaka zino etuumiddwa ‘Jacob Oulanya Memorial Autocross and Enduro Challenge 2023’ ze z’omulundi ogwokubiri ku kalenda y’omwaka guno nga zaakuvugibwa wiiki ejja (March 24-26) mu disitulikiti y’e Omoro.
Omukolo gw’okuzitongoza gwakuliddwaamu Norbert Mao, minisita w’ebyamateeka ku wooteeri ya Grand Imperial mu Kampala. Mao yawerekeddwaako aba ffamire ya Oulanya, Angella Ssemukutu, pulezidenti w’ekibiina kya ‘Uganda Bikers Association’, Dusman Okee eyaliko pulezidenti wa FMU, Reynold Kibira omumyuka wa pulezidenti wa FMU n’abalala.

Oulanya yali muvuzii wa ddigi z’empaka ez’abakungu wansi wa Uganda Bikers Association. Wano FMU we yasinziiridde okutwala empaka za Autocross mu Omoro, disitulikiti Oulanya gye yaziikibwa nga bamujjukira olw’omulimu gwe yakolera aba ddigi bwe yabayambako okusonyiwa omusolo ku pikipiki z’empaka empya eziyingizibwa mu ggwanga mu 2016.
Oulanya mu 2015 yeetaba mu za enduro ezaayindira mu Fiduga Flowers Nsimbe Estates era wano omukwano gwe ne FMU we gwatandikira okutuusa lwe yafa omwaka oguwedde.
“Ng’oggyeeko okufuna obubonero ku ngule y’eza Autocross, Oulanya yali muwagizi waffe nnyo era ng’afaayo okulaba ng’omuzannyo tegunyigirizibwa, y’ensonga lwaki ng’enda kwetaba mu mpaka zino okujjukira emirimu gy’omugenzi,” Kansiime bwe yategeezezza.
Kibira yasabye minisita Mao okuyambako FMU ku mitendera emikakali egyassibwawo URA mu kukyusa ebiwandiiko by’oyo abeera aguze mmotoka y’empaka ku munne mu ggwanga.
Ku nnaku essatu ezirambikiddwa okujjuukirirako Oulanya, bagenda kuvugiramu ddigi z’empaka, mmotoka z’empaka, ekitambiro kya mmisa n’okuzannya omupiira ogw’omukwano wakati wa ttiimu y’ekyalo ne bannamuzannyo gwa mmotoka z’empaka.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *