Fayinolo ya Rugby wakati wa Uganda ne Kenya mu Victoria Cup’yafaananidde ddala eya World Cup, South Africa mwe yawangudde New Zealand ng’egisinzeeko akagoba kamu. Munsiike eyatadde abawagizi ku bunkenke ku kisaawe kya Kings Park e Bweyogerere ku Ssande, Rugby Cranes, ttiimu y’eggwanga eya rugby yakubye Kenya {21-20} n’esitukira mu kikopo kya Victoria Cup. Mu ya
Fayinolo ya Rugby wakati wa Uganda ne Kenya mu Victoria Cup’yafaananidde ddala eya World Cup, South Africa mwe yawangudde New Zealand ng’egisinzeeko akagoba kamu.
Munsiike eyatadde abawagizi ku bunkenke ku kisaawe kya Kings Park e Bweyogerere ku Ssande, Rugby Cranes, ttiimu y’eggwanga eya rugby yakubye Kenya {21-20} n’esitukira mu kikopo kya Victoria Cup.
Mu ya World Cup, South Afrika yawangula [12-11} e Parise ekya Bufalansa.
Uganda ekikopo yakiggye wala ng’abawagizi baasose kwewanika mitima olwa Kenya okusooka okukulembera omuzannyo ku bugoba 12-0 oku tuusa kapiteeni wa Uganda, bwe yateebye peneti bbiri ne bafuna obubonero 6.
Ng’ebola eddakiika 5, Kenya yabadde ekulembedde {20-18} wabula Ian Walker Junior n’ateebera Uganda peneti mu ddakiika esembayo n’ebawa obubonero 3 n’ekikopo.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *