FIFA ekakasizza bannauganda 24 okulamula omupiira ku mutendera gw’ensi yonna.

FIFA ekakasizza bannauganda 24 okulamula omupiira ku mutendera gw’ensi yonna.

Ekibiina ekiddukanya omupiira ogw’ebigere munsi yonna ekya FIFA, kikakasiza baddiifiri 24 bannauganda abafunye badge ezibakkiriza okulamula omupiira ku mutendera gw’ensi yonna omwaka ogujja 2024. Baddiifiri bano kuliko ab’omukisaawe wakati n’abamyuka babwe, era ab’omukisaawe wakati abafunye badge ya FIFA ye Ali Sabila Chelangat, Mashood Ssali, William Oloya, Lucky Kasalirwe ne George Olemu. Abawuubi b’ekitambala ye Ronald Katenya,Hakim

Ekibiina ekiddukanya omupiira ogw’ebigere munsi yonna ekya FIFA, kikakasiza baddiifiri 24 bannauganda abafunye badge ezibakkiriza okulamula omupiira ku mutendera gw’ensi yonna omwaka ogujja 2024.

Baddiifiri bano kuliko ab’omukisaawe wakati n’abamyuka babwe, era ab’omukisaawe wakati abafunye badge ya FIFA ye Ali Sabila Chelangat, Mashood Ssali, William Oloya, Lucky Kasalirwe ne George Olemu.

Abawuubi b’ekitambala ye Ronald Katenya,Hakim Mulindwa, Emmanuel Okudra, Timothy Gumisiriza Karusigarira, Brianson Musisi ne Ashiraf Katerega.

Baddifiri abakazi ab’omukisaawe wakati ye Shamirah Nabadda, Habiba Naigaga ne Diana Murungi, ate abawuubi b’ekitambala abakazi ye Lydia Nantabo Wanyama, Jane Mutonyi, Elizabeth Nassolo ne Immaculate Ongiera.

Mu mupiira gwa Futsal abafunye badge ye Brian Emmy Nsubuga ne Isaac Sengendo ate mu mupiira gwa beach soccer abafunye badge ye Ivan Kintu Bayige, Muhammad Ssenteza, Kennedy Kawagga Bazirio ne Joel Chote Munyendoh.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *