Fifa World Cup 2022; Argentina etutte ekikopo.

Fifa World Cup 2022; Argentina etutte ekikopo.

Ttiimu y’eggwanga lya Argentina esitukidde mu mpaka z’ensi yonna ez’omupiira ogw’ebigere eza FIFA World Cup 2022, ezibadde ziyindira e Qatar bw’ekubye France goolo 4-2 ezibadde ez’okusimulagana peneti oluvanyuma lw’okulemagana goolo 3-3 mu ddakiika 120. Omupiira guno ogubaddeko n’obugombe guzanyiddwa mu kisaawe kya Lusail Iconic Stadium, wakati mu nduulu ya bawagizi ba ttiimu zonna abajjuza ekisaawe

Ttiimu y’eggwanga lya Argentina esitukidde mu mpaka z’ensi yonna ez’omupiira ogw’ebigere eza FIFA World Cup 2022, ezibadde ziyindira e Qatar bw’ekubye France goolo 4-2 ezibadde ez’okusimulagana peneti oluvanyuma lw’okulemagana goolo 3-3 mu ddakiika 120.

Omupiira guno ogubaddeko n’obugombe guzanyiddwa mu kisaawe kya Lusail Iconic Stadium, wakati mu nduulu ya bawagizi ba ttiimu zonna abajjuza ekisaawe kino.

Goolo za Argentina mu dakiika 130 ziteebeddwa captain Lionel Messi atebyeko goolo 2 ne Angel Di Maria atebyeko goolo 1 ate nga eza France zonna 3 ziteebeddwa Kylian Mbappe.

Argentina ewangudde ekikopo kino omulundi gwayo ogw’okusatu, nga yasooka kuziwangula mu 1978 ne 1986.

France esigadde n’ebikopo byayo 2 bye yawangula mu 1998 ne 2018, era France yakalemerwa okuwangula ekikopo emirundi 2 nga etuuse ku final.

Argentina efuuse eggwanga erisoose mu myaka 20 agayise okuva wabweru wa Bulaaya okuwangula world cup,era eggwanga lya South America okuwangula ekikopo kya World cup okuva Brazil lweyakiwangula mu mwaka gwa 2002.

Kylian Mbappe

Omufalansa Kylian Mbappe yasinze okuteeba goolo enyingi mu mpaka zino ziri 8, era nafuuka omuzannyi asoose okuteeba goolo 3 mu mupiira gw’ensi yonna ogw’akamalirizo.

Mbappe ku myaka 23 gy’alina afuuse omusambi wa Bufalansa asoose okuweza ggoolo za world cup 12 mu mipiira 15 ku myaka egyo emito.

Lionel Messi yawereddwa engule ey’omusambi asinze okwolesa omutindo mu world cup eno.

Mu kiwendo kye kimu,   omusambi Enzel Fernandes naye munnansi wa Argentina yafunye engule y’omusambi asinze obuto mu world cup.

Ate ye Emiriano Martinez era munansi wa Argentina afunye golden Glove ey’omukwasi wa ggoolo asinze mu Fifa world cup 2022.

Empaka za FIFA World Cup eziddako zigenda kubeera mu America, Canada ne Mexico mu 2026, era zakwetabwamu amawanga 48 okuva ku 32 agetabye mu mpaka z’omwaka guno 2022.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *