Fifa world cup; Abasambi ba France bongedde okukola ebyafaayo

Fifa world cup; Abasambi ba France bongedde okukola ebyafaayo

Bufalansa yakubye Poland ggoolo 3 :1 mu luzannya lwa team e 16, neyitawo okwesogga omutendera gwa team omunana oba Quarter finals mwegenda okuzanyira Bungereza. Abasambi okuli Olivier Giroud, Kylian Mbape ne Hugo Loris bayingidde mu byafaayo by’omupiira gw’ekikopo ky’ensi yonna ekiyindira e Qatar. Omusambi Olivier Giroud yafuuse omusambi akyasinze okutebeera Bufalansa ggoolo ennyingi, yakateeba ggoolo

Bufalansa yakubye Poland ggoolo 3 :1 mu luzannya lwa team e 16, neyitawo okwesogga omutendera gwa team omunana oba Quarter finals mwegenda okuzanyira Bungereza.

Abasambi okuli Olivier Giroud, Kylian Mbape ne Hugo Loris bayingidde mu byafaayo by’omupiira gw’ekikopo ky’ensi yonna ekiyindira e Qatar.

Omusambi Olivier Giroud yafuuse omusambi akyasinze okutebeera Bufalansa ggoolo ennyingi, yakateeba ggoolo 52.Yamenyeewo record ya Thierry Henry ebadde emaze ebbanga eddene nga yakyalina record eyo eya ggoolo 51.

Omusambi Kylian Mbape yateebye ggoolo ey’omwenda mu mpaka za World cup, era kati asinga abasambi abamanya okuli Cristiano Ronaldo ne Diego Maradona.

Newankubadde Cristiano Ronaldo ateebye mu mpaka za world zonna zasambye okuli owa 2006, 2010, 2014, 2018 ne 2022 mweyakasambira emipiira 20, naye yakateeba ggoolo 8 zokka.

Ate Lionel Messi yateebye ggoolo ey’omwenda mu mpaka za world Cup, Argentina bweyabadde ekuba Australia ggoolo 2 : 1, era kati alina ggoolo 9 mu mipiira 25 egya world cup gyeyakasamba.

Kyokka omusambi Mbappe ye yakasamba emipiira 11 egya world cup, nga yatandiikira mu world cup wa 2018, era yali musaale nga Bufalansa ewangula ekikopo ekyo.

Mbappe era afuuse omusambi asoose mu byafaayo bya world cup okuteeba ggoolo mwenda nga tanaweza myaka 24

Ate omusambi Hugo Loris nga mukwasi wa ggoolo yasambye omupiira gwe ogwe 142 ng’ali ku team y’eggwanga lya Bufalansa, kati yenkanankana ne Lilian Thuram ng’abasambi abakyasinze okusambira Bufalansa.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *