Fifa world cup: Brazil ye Kabaka w’ekikopo.

Fifa world cup: Brazil ye Kabaka w’ekikopo.

Ng’esigadde ennaku 4 okutuuka ku mpaka z’omupiira ogw’ebigere ezisinga ettuttumu munsi yonna eza FIFA World Cup ezigenda okubeera e Qatar okuva nga 20 omwezi guno, Brazil lye ggwanga lyokka erikiise mu mpaka zonna bukyanga zitandikibwawo mu 1930 ezaali mu Uruguay. Kino kitegeeza nti Brazil yakakiika mu mpaka zino emirundi 22. Yakawangula empaka zino emirundi 5

Ng’esigadde ennaku 4 okutuuka ku mpaka z’omupiira ogw’ebigere ezisinga ettuttumu munsi yonna eza FIFA World Cup ezigenda okubeera e Qatar okuva nga 20 omwezi guno, Brazil lye ggwanga lyokka erikiise mu mpaka zonna bukyanga zitandikibwawo mu 1930 ezaali mu Uruguay.

Kino kitegeeza nti Brazil yakakiika mu mpaka zino emirundi 22.

Yakawangula empaka zino emirundi 5 okuli empaka za 1958, 1962, 1970, 1994 n’empaka za 2002, era yekyasinze okuwangula empaka zino emirundi emingi.

Amawanga amalalal agaddako okukiika mu mpaka zino emirundi emingi ye Germany emirundi 20 era empaka zino yakaziwangula emirundi 4 mu 1954, 1974, 1990 ne 2014.

Argentina yakakiika emirundi 18 n’ewangula ebikopo 2, Italy nayo yakakika emirundi 18 n’ewangula ebikopo 4, Mexico yakakika emirundi 17 kyokka tewangulangako ku mpaka zino, wabula yakatuuka ku quarterfinal emirundi 2.

Spain, France ne Bungereza zakakiika emirundi 16 buli emu, Belgium ne Uruguay emirundi 14 buli emu, Serbia emirundi 13 nabalala.

Abategesi b’omulundi guno aba Qatar bagenda kukiika omulundi gwabwe ogusoose, nga n’ekibayambye nti bebategesi.

Wano ku semazinga Africa, ensi 13 zokka ze zakakiika mu mpaka zino, era Cameroon yeyakasinga okukiika mu world cup emirundi emingi 8, Tunisia, Nigeria ne Morocco emirundi 6 buli emu, Ghana ne Algeria emirundi 4 buli emu n’endala.

Uganda empaka zino ekyazikonga lusu.

Abategesi aba Qatar bebagenda okuggulawo empaka zino nga battunka ne Ecuador ku Sunday eno nga 20 November, 2022, ku ssaawa 1 eyakawungeezi.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *