Golola bamulabudde obutadda Tanzania.

Golola bamulabudde obutadda Tanzania.

KAWANDA bigambo Moses Golola ‘Of Uganda’ bannansi ba Tanzania bamuweze obutadda ku ttaka lyabwe bw’aba akyayagala obulamu!. Kino kiddiridde Golola okukuba munnansi waabwe Karim Mandonga enguumi kaziina eyamulese ng’abolooga, tamanyi na biri ku nsi. Ababiri baabadde n’olulwana lw’ekikonde olwabumbujjidde mu kibuga Mwanza wakati mu nnamungi w’abawagizi abalwose obuliro. Baabadde baakuttunkira lawundi 6 kyokka mu y’okusatu

KAWANDA bigambo Moses Golola ‘Of Uganda’ bannansi ba Tanzania bamuweze obutadda ku ttaka lyabwe bw’aba akyayagala obulamu!.

Kino kiddiridde Golola okukuba munnansi waabwe Karim Mandonga enguumi kaziina eyamulese ng’abolooga, tamanyi na biri ku nsi.

Ababiri baabadde n’olulwana lw’ekikonde olwabumbujjidde mu kibuga Mwanza wakati mu nnamungi w’abawagizi abalwose obuliro.

Baabadde baakuttunkira lawundi 6 kyokka mu y’okusatu Golola yakubye Mandonga ekikonde kya tonziriranga n’asigalako kikuba mukono.

Battunkidde mu buzito bwa ‘Cruiser’ kiro 86.

Obuwanguzi bwa Golola bulese Abatanzania nga beesoza, bakaawu era bamulabudde obutaddamu kulinnya kigere ku ttaka lyabwe.

Bagamba enkuba gye yakubyemu ssita waabwe yabadde ya buswavu nnyo.

Abamu baagambye nti engeri Golola gye yayambadde olubugo bwe babadde bapimibwa alabika yazze ne juju (eddogo).

Luno lwabadde lulwana lwa Golola olwakuna mu bikonde ng’ezisinga abadde azannya nsambaggere.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *