Golola ne Keeya buli omu yeewerera  munne.

Golola ne Keeya buli omu yeewerera  munne.

Olulwana lwa Moses Golola ‘of Uganda’ ne Hamza Keeya ‘General Fungu ‘ lutongozeddwa buli omu ne yeewerera munne. Bano bamaze emyaka egiwera nga buli omu ayogerera munne amafuukuule nga bw’atasobola nsambaggere.Lwatongozeddwa ku Akamwesi Mall e Kyebando mu kifo kyennyini we bagenda okuttunkira nga December 26 (Boxing Day) omwaka guno. Golola yawanze ebigambo ebya buli kika

Olulwana lwa Moses Golola ‘of Uganda’ ne Hamza Keeya ‘General Fungu ‘ lutongozeddwa buli omu ne yeewerera munne.

Bano bamaze emyaka egiwera nga buli omu ayogerera munne amafuukuule nga bw’atasobola nsambaggere.Lwatongozeddwa ku Akamwesi Mall e Kyebando mu kifo kyennyini we bagenda okuttunkira nga December 26 (Boxing Day) omwaka guno.

Golola yawanze ebigambo ebya buli kika ebyaggye Keeya mu mbeera okukkakkana nga beegudde mu malaka.Gololoa yamulaalise okumukuba amuweereko ne lisiiti.

Wabula Keeya yazzizza omuliro n’awera bw’agenda okuwa Golola essomo lyalinyumizaako n’abewaabwe.Balwanira mu buzito bwa ‘’middle ‘’ mu nnwaana eya K1 Style ey’okukozesa tteke ,ebikonde n’amaziivi.

Patrick Mugambagye,omtegesi w’olulwana luno agamba balubiirira okuvumbula n’okutumbula ebitone bya bannabyamizannyo kyokka batandise ne Golola ayongere okusikiriza abalala mu nteekateka eno.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *