Gov’t ewadde Uganda Cranes ensimbi esobole okukiika mu mpaka za CHAN.

Gov’t ewadde Uganda Cranes ensimbi esobole okukiika mu mpaka za CHAN.

Kyaddaaki ekibiina ekiddukanya omupiira mu Uganda ekya FUFA kifunye ku buwerero, ministry y’ebyensimbi ekiwadde obuwumbi 2 okuyambako ttiimu ya Uganda Cranes okukiika mu mpaka za Africa Nations Championships CHAN, ezigenda okubeerawo omwaka ogujja 2023 mu Algeria. Minister omubeezi ow’ebyensimbi Amos Lugoloobi, y’akakasiza ensimbi zino, bwabadde asisinkanyemu akakiiko ka parliament ak’ebyemizannyo. Minister agambye nti FUFA yabasaba

Kyaddaaki ekibiina ekiddukanya omupiira mu Uganda ekya FUFA kifunye ku buwerero, ministry y’ebyensimbi ekiwadde obuwumbi 2 okuyambako ttiimu ya Uganda Cranes okukiika mu mpaka za Africa Nations Championships CHAN, ezigenda okubeerawo omwaka ogujja 2023 mu Algeria.

Minister omubeezi ow’ebyensimbi Amos Lugoloobi, y’akakasiza ensimbi zino, bwabadde asisinkanyemu akakiiko ka parliament ak’ebyemizannyo.

Minister agambye nti FUFA yabasaba obuwumbi 6 okusobozesa Uganda okwetaba mu mpaka za Chan, kyokka basobodde okugiwaako obuwumbi 2.

Ensimbi zino zigidde mu kiseera nga president wa FUFA Eng Moses Magogo, yakamala okutegeeza nti Uganda Cranes tegenda kwetaba mu mpaka za Chan olwa ministry okulemererwa okubawa ensimbi.

Uganda mu mpaka za Chan eri mu kibinja D ne Senegal, DR Congo ne Ivory Coast.

Empaka za Chan zetabwamu abazannyi bokka abazannyira ewaka.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *