Guardiola acoomedde Rodri.

Guardiola acoomedde Rodri.

Pep Guardiola, omutendesi wa Man City acoomedde omuwuwuttanyi we Rodri olw’okweyisa nga atali pulofeesono ekyamuviiriddeko okuweebwa kaadi emmyuufu nga bawangula Nottingham Forest {2-0} ku Lwomukaaga. Rodri yavudde mu mbeera n’agwa Morgan Gibbs-White owa Nottingham eyamucookozezza mu malaka okukkakkana nga ddiifiri Anthony Taylor amuwadde kaadi emmyuufu. Guardiola agamba nti, ‘’Nga omuzannyi aludde mu mupiira, olina okwefuga,

Pep Guardiola, omutendesi wa Man City acoomedde omuwuwuttanyi we Rodri olw’okweyisa nga atali pulofeesono ekyamuviiriddeko okuweebwa kaadi emmyuufu nga bawangula Nottingham Forest {2-0} ku Lwomukaaga.

Rodri yavudde mu mbeera n’agwa Morgan Gibbs-White owa Nottingham eyamucookozezza mu malaka okukkakkana nga ddiifiri Anthony Taylor amuwadde kaadi emmyuufu.

Guardiola agamba nti, ‘’Nga omuzannyi aludde mu mupiira, olina okwefuga, olina okumanyq ddi lw’onyiiga ne wa w’okoma.

Mmanyi nti Rodri ajja kuyiga.’’ Guardiola bwe yategeezezza abaamawulire.

Ekisinga okuluma Guardiola ye muzannyi we ono okuba nti waakusubwa emipiira egy’omutawaana okuli n’ogwa Arsenal mu Premier gye banaakyalira nga October 8.

Man City yeenywerezza ku ntikko ya Premier ku bubonero 18 mu mipiira mukaaga.

Mu ngeri y’emu, omutendesi wa ManU, Erik ten Hag yatendesi wa ManU, Erik ten Hag yatenderezza omutima ogufiirawo abazannyi be gwe baayolesezza nga bawangula Burnley {1-0}. Eno ye wiini ya ManU esoose mu mipiira ena egisembyeyo.

Ten Hag agamba nti eno wiini baabadde bagyetaaga nnyo.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *