Babadde mu nsitaano e Lugogo ku kisaawe kya Legends aba Kobs bwe babakyazizza mu luzannya olusooka olwa liigi ya sizoni eno. Mu luzannya luno olumu ku zisiinga okutunuulirwa mu bakirimaanyi mu muzannyo guno abagenyi aba Heathens baavudde mabega okuwangula nga Kobs. Ekitundu ekisooka kyaweddeko nga bannyinimu bakulembedde ku bugoba 12-6 wabula Heathens n’edda na maanyi
Babadde mu nsitaano e Lugogo ku kisaawe kya Legends aba Kobs bwe babakyazizza mu luzannya olusooka olwa liigi ya sizoni eno.
Mu luzannya luno olumu ku zisiinga okutunuulirwa mu bakirimaanyi mu muzannyo guno abagenyi aba Heathens baavudde mabega okuwangula nga Kobs.
Ekitundu ekisooka kyaweddeko nga bannyinimu bakulembedde ku bugoba 12-6 wabula Heathens n’edda na maanyi mu kutundu ekyokubiri.
Ekyewunyisizza abawagizi ze ttiimu zombi okufuna obubonero obusinga okuva mu kusimula peneti okujjako Heathens ye yokka eyasobodde okutuusa omupiira ku lukoloboze lwa ggoolo okufuna obubonero butaano obwawamu.
We gwasingidde okussa abawagizi ku bunkenke Kobs bwe yabadde ekulembedde ku bunonero 12-11 n’efuna peneti n’ekulembera ku bugoba 15-11.
Wabula Heathen yafunye peneti ng’ebula eddakiika ssatu guggwe ne fubeera 15-14.

Kyokka ng’ebula sikonda 30, Aaron Ofoywroth yateebye omupiira ogwokuzinduukiriza wakati wa ggoolo empanvu Heatehns n’efuna busatu n’ekutulira Kobs mu maanyi ku bugoba 17-15.
Michael Wokorach kapiteeni wa Heathens n’abawagizi basigadde natendereza Ofoywroth olw’obukujjukujju obubasobozesezza okuwangula bajjabaabwe.
“Bulijjo omupiira gwaffe ne Kobs gubeerako obugoombe. Ensitaano ebadde y’amaanyi era tusanyukidde Ofoywroth okututuusa ku buwanguzi bw’atufunidde obugoba busatu mu sikonda ezisembeyo. Kitukoze bulungi okuwangula kubanga twatandika bubi liigi bwe twawangulwa omuiira ogwasooka. Kati tukomyewo era tutunuulidde kweddiza kikopo kya liigi,” Wokorach bw’ategeezezza.
Ate ye kapiteeni wa Kobs, Ian Munyanyi agambye nti bamativu ne kye bazannye kubanga ttiimu zombie kumpi zibadde zenkanya emikisa gy’okuwangula.
“Tubalinze mu luzannya olw’okudding’ana,” Munyani bw’ategeezezza.
Ofoywroth y’alondeddwa ku buzannyi bw’olunaku mu mupiira ogwo.
Mu nzannya za liigi endala, okufaananako Kobs, Mongers ey’e Ntebe ne Hippos ey’Ejinja zikubiddwa ku butaka ate nga Rams yenkanyizza evvumbe ne Rhinos bwe balemaganye ku bugoba 3-3.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *