Isaac Muleme yeegasse ku bazannyi abalala abali mu nkambi ya Cranes nga yeetegekera Algeria mu gw’okusunsulamu alizanya AFCON. Okujja kwe kugumizza omutendesi. Isaac Muleme ayingidde enkambi Micho Sredojevic n’afuna akaseko ku matama n’agamba nti ono kazze ttiimu etandise okuggumira. Muleme agucangira mu kiraabu ya Viktoria Žižkov e Czech alabiseeko mu kutendekebwa e Kisaasi ne banne
Isaac Muleme yeegasse ku bazannyi abalala abali mu nkambi ya Cranes nga yeetegekera Algeria mu gw’okusunsulamu alizanya AFCON. Okujja kwe kugumizza omutendesi.
Isaac Muleme ayingidde enkambi Micho Sredojevic n’afuna akaseko ku matama n’agamba nti ono kazze ttiimu etandise okuggumira.
Muleme agucangira mu kiraabu ya Viktoria Žižkov e Czech alabiseeko mu kutendekebwa e Kisaasi ne banne nga betegekera okuttunka ne Algeria (nga June 4) ne Niger (oluvannyuma lw’ennaku 3) mu zisunsula abalyetaba mu mpaka za AFCON omwaka ogujja.
Ono yeegasseeko abazannyi abalala abazannyira mu liigi y’eggwanga eya Star Times Uganda Premier League nga bwe balindirira ba pulo abalala okutuuka mu ggwanga.
Abazannyi abalala abayitiddwa Micho okuwa abaliwo okuvuganya kuliko Oscar Mawa ne Travis Mutyaba abagucangira mu kiraabu ya SC Villa.
Leave a Comment
Your email address will not be published. Required fields are marked with *