Isabirye abawagizi bamukaabizza amaziga ng’asiibula BUL.

Isabirye abawagizi bamukaabizza amaziga ng’asiibula BUL.

OMUWAGIZI eyategeerekeseeko erya Sula ng’ono makanika wa mmotoka mu Kabuga k’e Kirinnya mu Jinja olwategedde nti omutendesi wa BUL (Sula gy’awagira okuzaama), Alex Isabirye agenda ku baabulira, kwe kumuliimisa ng’omupiira gwa BUL ne Villa mu Stanbic Uganda Cup guwedde n’amukwata okugulu. Sula yatandise okubuuza Isabirye nti, “Lwaki otulekawo…..” Ono yabadde atudde wansi ng’ayagala Isabirye amwanukule

OMUWAGIZI eyategeerekeseeko erya Sula ng’ono makanika wa mmotoka mu Kabuga k’e Kirinnya mu Jinja olwategedde nti omutendesi wa BUL (Sula gy’awagira okuzaama), Alex Isabirye agenda ku baabulira, kwe kumuliimisa ng’omupiira gwa BUL ne Villa mu Stanbic Uganda Cup guwedde n’amukwata okugulu. Sula yatandise okubuuza Isabirye nti, “Lwaki otulekawo…..” Ono yabadde atudde wansi ng’ayagala Isabirye amwanukule ekimusuuzaawo ttiimu yaabwe agende mu Vipers.

Nga Sula akyegayirira Isabirye, abawagizi abalala nabo we baatuukidde nabo ne bamwegattako okwegayirira Isabirye asigale. Bino byonna okubaawo ng’abazannyi ba BUL n’abakungu baayo baakoze dda olukomera (circle) balinze Isabirye abasiibule mu butongole.

Isabirye bwe yatuuse abazannyi n’abakungu ba BUL okwabadde ne ssentebe wa ttiimu eno, Ronald Barente we baabadde kwe kutandika okukaaba era ebigambo ebisiibula ne bumubula. Ssentebe Barente ye yamusirisizza n’amusangula amaziga n’amugumya okwogera eri abazannyi.

Olwafunye obuvumu, Isabirye yayogedde eri abazannyi n’abategeeza nti “Simanyi waakutandikira naye wadde ng’enze, omubiri gwe gutambudde naye nja kuba nnammwe mu mwoyo era buli kye nfunye wano nga ndi ne BUL kivudde ku busobozi bwaffe ffenna.”

Barente yategeezezza nti Isabirye agenze tebamubanja kuba yatuukirizza buli kimu kye baamusaba. Yayagalizza Isabirye mirembe gy’alaze gy’alaze era n’asaba abazannyi bamusabire n’okumuwagira era nti bagenda kutuula n’abakungu ba BUL basalewo omutendesi omulala gwe banaaleeta.

Joseph Mutaka, akulira emirimu mu BUL yategeezezza nti abatendesi ababadde wansi wa Isabirye baakugenda mu maaso n’okutendeka ttiimu nga bakulemberwa Simeon Masaba kuba alina obumanyirivu. Abamu ku bazannyi okwabadde Ibrahim Nsimbe ne Ivan Wani baategeezezza nti baakusubwa nnyo kooci Isabirye.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *