Isabirye ne Wandyaka balidde engule ya Pilsner Monthly Awards.

Isabirye ne Wandyaka balidde engule ya Pilsner Monthly Awards.

Omutendesi wa BUL FC ,Alex Isabirye n’omuteebi Richard Wandyaka balidde engule ya Pilsner Monthly Awards;Oluvannyuma lw’okwolesa omutindo ogw’enjawulo mu Star Times Uganda Premier League omwezi oguwedde ogwa October. Isabirye yamezze Jackson Magera owa (SC Villa) ne Mohammed Ssenfuma owa Maroons FC, mu mipiira etaano gye bazannya mu mwezi gwa October,BUL FC yakung’anyizza obubonero 11.Wandyaka yamezze

Omutendesi wa BUL FC ,Alex Isabirye n’omuteebi Richard Wandyaka balidde engule ya Pilsner Monthly Awards;Oluvannyuma lw’okwolesa omutindo ogw’enjawulo mu Star Times Uganda Premier League omwezi oguwedde ogwa October.

Isabirye yamezze Jackson Magera owa (SC Villa) ne Mohammed Ssenfuma owa Maroons FC, mu mipiira etaano gye bazannya mu mwezi gwa October,BUL FC yakung’anyizza obubonero 11.Wandyaka yamezze Karim Ndugwa bwe bazannya mu BUL FC ne Fred Amaku owa Maroons.

Omwezi oguwedde,Wandyaka yateeba ggoolo 4 eza liigi.

‘’Singa si bazannyi bannange n’abatendesi,sandituuse ku buwanguzi buno kuba ffenna tubadde tukolera wamu okulaba nga tutuuka ku buwanguzi,’’Wandyaka bwe yategeezezza.

Ku ngule eno,baabagatiddeko shs.1,000,000 buli omu nga byabakwasiddwa ku mukolo ogwabadde ku wooteeri ya Kati Kati e Lugogo ku lwokusatu wabula Isabirye yakiikiriddwa Humphery Mandu owa FUFA.

Omusasi Waffe
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *