IUEA ne Kumi basisinkanye mu liigi ya yunivaasite

IUEA ne Kumi basisinkanye mu liigi ya yunivaasite

Leero Lwakuna (April 7,2022) liigi ya yunivasite ekomyewo olunaku Olwokubiri n’ensiike mu kibinja A wakati wa Kumi ng’ekyazizza IUEA ku kisaawe kya yunivaasite y’e Kumi nga buli ttiimu enoonya wiini esooka okwegatta ku Uganda Christian University (UCU) mu kibinja kye kimu, abaawangudde Victoria University (2-0) ku Lwokubiri.p Arthur Cimanuka atwala eby’emizannyo ku IUEA agamba nti

Leero Lwakuna (April 7,2022) liigi ya yunivasite ekomyewo olunaku Olwokubiri n’ensiike mu kibinja A wakati wa Kumi ng’ekyazizza IUEA ku kisaawe kya yunivaasite y’e Kumi nga buli ttiimu enoonya wiini esooka okwegatta ku Uganda Christian University (UCU) mu kibinja kye kimu, abaawangudde Victoria University (2-0) ku Lwokubiri.p

Arthur Cimanuka atwala eby’emizannyo ku IUEA agamba nti omulundi guno bayungudde ttiimu kabiriiti, ejjudde abaana abato abalina ennyonta ng’ekigendererwa kya kuva mu kibinja.

“Ttiimu enkadde yonna yasasika, kati tulina abazannyi bato abalina ennyo, tulumba Kumi n’okweswanta kuba buli mupiira tugwagalamu akabonero oba obubonero, olulimi tutegeera lwa bubonero,” Cimanuka bwe yategeezezza.

Steven Onyait atwala ebyemizannyo ku Kumi University agamba nti nabo beetegese bulungi okuteekawo okuvuganya naddala nga bali waka mu nsiike ya leero baagala buwanguzi.

Ebibinja biri mukaaga sizoni eno, ttiimu yokka ekulembera ye yeesogga ‘Quarter’ fayinolo n’endala bbiri ezisinze okukung’aanya obubonero obungi okuweza ttiimu 8.

userad
ADMINISTRATOR
PROFILE

Posts Carousel

Leave a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked with *